Bya Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga alonze omumyukawe ow’okubiri Owek Twaha Kawaase okulemberamu akakiiko akanategeka amazaalibwa ga Beene.
Ssabasajja agenda kuweza emyaka 63 egy’obuto nga April 13.
Emikolo nga bulijjo jakuberamu okudduka emisinde bbuna byaalo jebayita Kabaka Birthday Run. Sente ezinavaamu zakuyambako okujanjaba abantu abalina obulwadde bwa sickle cell.
Emikolo emikulu jakubeera ku ssomero lya Kabaka eriyitibwa Lubiri High School, Buloba Campus. Eyo Kabaka Mutebi alitongoza ekizimbe ekimazeewo obuwumbi bwesimbi. Jjukira nti buli mwaka Ssabasajja alina pulojekiti enkulu jagulawo kumazaalibwage nga Masengere, BBS Terefayina yaffe and kati Buloba kampasi ya Lubiri High.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com