ABASUUBUZI abakolera mu bizimbe mu Kampala emirimu gibayinze ne basalawo okudduka mu bizimbe mwe babadde bakolera lwa kulemererwa nsimbi za bupangisa.
Embeera eno bagamba nti evudde ku kuba nti omuggalo ogw’atekebwawo Gavumenti olw’okutangira ekilwadde kya Covid gwabakosa nnyo, nti kyokka mu kiseera we bakoomerawo okukola bannanyini bizimbe bagaana okubakendereza ku nsimbi z’obupangisa kye bagamba nti zino zibazitoweredde.
Mu kiseera kino abasinga emirimu basazeewo kugikolera mu maka gaabwe, era kati emaali yonna baamaze dda okugijja mu bizimbe bya bagagga eri waka nga webasinziira okugitambuza nga bakozesa amamotoka gaabwe, okusinga okutuula mu bizimbe gye bagamba nti tebakola.
Abalala kati bakolera kumitimbagano naddala Face Book nga kwebalangira ebyamaguzi byabwe omuntu abyagala n’abakubira ne babimutwalira ku dduuka lye, oba mu makaage.
Buli wooyita mu kibuga naddala mu kikuubo, Nabugabo, Kafumbe Mukasa nawalala pupande bwe bukwaniriza obulaga nti waliwo ebifo ebipangisibwa nga mu kiseera kino ababibaddemu baabidduse dda okwetegula ebizibu by’omusimbi omuyitirivu ogubasabibwa bannanyini bizimbe.
Ebizimbe ebisinze okukosebwa kuliko Nabugabo Business Centre, Qualicel Bus Terminal, Gaggawala Sawuliyaako, Yamaha Centre, Jjemba Plaza, Bulamu bwe Bugagga ne ndala nyingi.
Charles Matovu omu ku basuubuzi wa ngoye za basajja mu kikuubo agamba nti ye ne banne baasazeewo okuzza emmaali awaka olw’ensonga nti baagezaako nga bwe basobola okukaabira abannanyini bizimbe babasonyiweyo wakiri emyezi 2 gyokka gye baamala nga tebakola olw’omuggalo, nti kyokka beerema kyagamba nti ka basooke bawummulemu ku bizimbe bya bagagga baddeko awaka.
“Tetujja kulemererwa kubanga ebintu bye tusuubuza abantu babyagala, kati tusazeewo tubibatwalire mu maka gaabwe nga tukozesa obumotooka bwaffe tusobole okufuna ensimbi ezitulabirira ne Famire zaffe.
Tukyalina era ekizibu kya Banka gye twajja ensimbi ze tukozesa kubanga wano mu kibuga abasuubuzi batono nnyo abakozesa ensimbi ezaabwe ku bwabwe, abamu balina abawozi ba sente (Money Lenders) ababali obubi nga beetaaga sente zaabwe kale ebintu bikyali bizibu” Matovu bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com