Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Jacob Oulanya kyadaaki amaze nakomawo mu Ggwanga mu kasilise okuva e Bungereza gyabadde okumala akaseera.
Oulanya yayingidde Uganda ku makya g’olwomukaaga nga ayita ku kisaawe Entebbe, oluvanyuma ab’omumakaage ne bamukima okumutwala mu makaage agasangibwa e Muyenga mu Kampala.
Ono abadde amaze ebbanga lya mwezi gumu ne kitundu nga tali mu Ggwanga era nga yasemba okulabikako mu lujjudde bwe yali akubiriza olutuula lwa Palimenti omwali okusoma Bajeti e Kololo.
Okuva ku olwo Oulanya abadde talabikako ekyatuusizza n’ababaka okutandika okwebuuza ekituufu ekibadde kyamutuukako.
Mu kusooka waaliwo engambo nti oba oli awo yali ayodde ekilwadde kya Covid, kyokka akulira ebyamawulire mu Palimenti Chris Obore navaayo nategeeza nti tekyali kituufu, wabula omukulu yali agenzeeko Bungereza kukyalira ku Bantu be abawangaalira eyo.
Ababaka babadde bategese ku mande okuvaayo okubuuza omumyuka we wa mukama wabwe gye yalaga kyokka babadde bakyali awo ate amawulire ne gafuluma nti yakomyewo mu Ggwanga nti era agenda kuddamu okukakkalabya emirimu gye mu bbanga elitali lyawala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com