SSABAMINISITA Robinah Nabbanja alidde mu ttama nasalawo ensonga z’obulyake saako n’obwanantagambwako obuli mu offiisi ye okubikwasa akulira akakiiko akalwanyisa obulyi bwe nguzi mu maka g’omukulembeze we Ggwanga col. Edith Nakalema atandikire awo.
Nabbanja agamba nti tagenda kukola nabantu balyake ate nga ne mirimu tebasobola kugikolera mu budde kyagamba nti ebintu bwe binagenda bwe bityo abantu ba wansi tebagenda kufuna mpereza nnungi Okuva mu Gavumenti.
Bino we bijjidde nga Ssabaminisita yakamala okugobesa abakungu ba Gavumenti ebintu ebitali ku mutindo bye baali batwalidde abantu be Kasese abaakosebwa amataba, era nagaana n’okubigaba nga agamba nti biswaza Gavumenti.
Wano era yawera okuttunka n’abaali bakutte kkontulakita okutwalayo ebintu ebyo ku lwa Gavumenti, nagamba nti bino yali tayagala kuddamu kubilaba nti kubanga Gavumenti bwevaayo okuyamba abantu kyetaagisa eweyo ebintu ebiri ku mutindo.
Bwe yakomawo e Kampala nakeera kugenda ku offiisi ye ku ssawa 2 ez’okumakya ku lw’okusatu eno yasanga ekyali nzigale nga abakozi bakyali mu maka gaabwe ekintu ekyamuyisa obubi saako n’okuswala, nagamba nti enkola eno tagenda kugikkiriza omuli abakozi okutuuka ekikeerezi ku mulimu.
Wano we yasinzidde nawera okugogola offiisi ya SsabaMinisita nti kubanga abantu abaliyo balabika eby’okukola babisaagiramu era ensonga zonna n’azikwasa akola ku kulwanyisa obulyake mu maka g’omukulembeze we Ggwanga Col. Edith Nakalema atandikire awo okunonyereza.
Nakalema yeyamye okugenda mu maaso n’omulimu ogw’amuwereddwa mukamaawe nawera okuttunka nabakozi abalyake okutuusa nga babamazeemu mu Offiisi ya Ssabaminisita.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com