OMUBAKA wa Mambuka ge Kawempe mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Muhammad Ssegiriinya eby’okuvuga emmotoka ezitunula nga abantu abivuddeko, ono asazeewo ensimbi obukadde 200 ze bamuwadde aziddize abalonzi be baagamba nti bazetaaga nnyo okusinga ye.
Ono agamba nti okusinziira ku mbeera eliwo mu kitundu kyakikirira naddala nga ekirwadde kya Covid kigootanyizza buli mulimu abantu be mwe baali bajja ensimbi, talaba lwaki sente zino azikozesa ye nga omuntu nga bantu abaamulonda bali bubi.
“Sente zino ngenda kuziteeka mu bibiina bya bakyala n’abavubuka abakola emirimu emitonotono okusobola okwebezaawo, nabo babeeko we bafunira kubanga nze nga omuntu omu emmotoka eyo etemagana nga mukene silina kye njetaaza.
Abantu bange ab’eKawempe nabasuubiza okubasakira nga ntuuse mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu era kino kye mbaddiza okusooka ku bingi bye nkyaleeta.
Ka ngira nvuga akamotoka kange abangi ke bamanyi naye nga abantu bange wakiri mbaddizaako nabo beekulakulanye era beeyagale” Ssegiriinya bwe yagambye.
Ababaka ku ntandikwa ya Wiiki eno baafuna omusimbi obukadde 200 buli omu zibayambe mu kugula emmotoka kapyata zibayambeko mu kukola emirimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com