ABATUUZE ku Bizinga bye Buvuma kyadaaki bandifuna ku ssanyu elinaava mu nkulakulana egendereddwamu okulina ekirime kye binazi mu kitundu kyabwe.
Ebinazi bino bye bivaamu butto akozesebwa mu kufumba emmere ey’enjawulo saako n’amafuta ga Dizero agatambuza ebidduka.
Kawefube ono e Buvuma yatandika emyaka 6 emabega oluvanyuma lwa bakulembeze abaaliko okusaba Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni abasenderesendere ab’ekitongole kya National Oil Palm Project (NOPP) kigendeko mu kitundu kyabwe kikoleyo emirimu nga bwe kyakola mu Disitulikiti ye Kalangala.
Entekateeka eno yagenda mu maaso era nga kati ekitongole kya NOPP kikolera ddala emirimu gyakyo mu kitundu kye Buvuma ku bwagagaavu bwe ttaka eliweza obunene bwa Hekiteya 7000 nga kwotadde n’abalimi baabulijjo abaweza obunene bwa Hekiteya 3000.
Abatuuze mu kitundu kino tebasigadde kye kimu oluvanyuma lwe mirimu gya NOPP okutandika, era nga batuuze balina asuubi ly’okugaggawala singa ekitongole ky’ongeramu amaanyi.
David Ssegujja omutuuze we Busamuzi nga ono yasalawo okulima ebinazi ku lulwe nga omuntu agamba nti okuva aba NOPP bwe baatuuka e Buvuma embeera yaabwe yakyuka naddala mu nkozesa ye ttaka, nti kubanga luli baali batunuulira butunulizi bisiko eby’etolodde ettaka lyabwe nga ne ky’okukolerako tebakilina nti kyokka oluvanyuama lw’okufuna emisomo egyenjawulo saako n’okulambula balimi banaabwe ku bizinga bye kalangala ne balaba nga baganyuddwa mu binazi nabo baasalawo bakomewo okwabwe benyigire mu kulima.
“Bwe nakomawo wano nasalawo ku ttaka lyange eliweza yiika 7 nkozeseeko 4 okulimako ebinazi ebinannyamba okujjamu akasente mu maaso ate 3 ne nsalawo nnimeko emmere abantu bange gye banalya kubanga tebajja kulya binazi.
Okusinziira nga bwentegese nsubira mu bbanga elitali lya wala ngenda kuba ntandika okufuna ku kasente nsomese abaana bange saako n’okulabirira amaka gange nga tewali kye tujula mu bulamu” Ssegujja bwe yagambye.
Nga ogyeko balimi mu kitundu kino okufuna ekinene, ate n’abavubuka bagenda kuganyulwa nnyo mu ntekateeka eno olw’emirimu egigenda okweyongera mu kitundu, era nga mu kiseera kino abantu abawerera ddala 600 bakola emirimu wansi we Kitongole kya NOPP kyokka nga bwe gunatuukira omwaka ogujja bajja kuba mu 3000.
Abantu 7000 be basuubirwa okufuna emirimu nga omu ku kawefube wa Gavumenti okumalawo ebbula lye mirimu mu Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com