OMUBAKA wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Mukono Hajjati Fatuma Ndisaba alidde mu ttama naawera okuggalawo obutale bwonna mu Mukono omuli abasuubuzi abakyalemeddwa okussa mu nkola ebilagiro by’abasawo ku bikwata ku kwetangira ekilwadde kya Covid.
Ndisaba agamba nti abasuubuzi mu butale babadde eby’okwekuuma obulwadde baabivaako dda, era nga buli omu ali ku munne teri kuteekawo yadde bbanga lyonna, okunaaba mu ngalo, okwambala zi masiki ne bilala, nagamba nti enkola yabwe eno tajja kugigumikiriza engeri ekilwadde gye kyeyongedde okusimba amakanda.
“Sigenda kutunula butunuzi nga abantu baffe bafa baggwawo olw’obulagajjavu ate bbo benyini bwe balina, ekyo waakiri obutale nja kubuggala okusobola okubakuuma nga balamu
Ngenda kufuba okutaasa bannaMukono ku kirwadde kino kubanga ne mu malwaliriro ensimbi z’obujjanjabi zeekanamye abantu baffe tebazisobola kyova olaba abasinga bafa bufi naddala abanaku abatalina nsimbi, n’olwekyo ssinga abasuubuzi baffe betumanyidde ddala nti bamufuna mpola tebafaayo kwekuuma ngenda kubazza awaka okusobola okubawonya” Ndisaba bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde akyaliddeko abasuubuzi b’omuKatale akasinga obunene mu Mukono amanyiddwanga Kame Valley Market mu kawefube gwaliko okulaba embeera abasuubuzi mwe bali naddala abo abakkirizibwa omukulembeze we Ggwanga okukola.
Yagambye nti abafubye okwekuuma tabalinaako buzibu era naye agenda kufuba okubasakira ebyetaago byabwe okuva mu Gavumenti, okugeza nga obutimba bwe nsiri saako n’okulaba nga bafuna ku nsimbi ezigenda okugabwa eri abakoseddwa omuggalo.
Yakubirizza abantu bonna okufuba okubeera mu maka gaabwe saako n’okwerinda ekirwadde kya Covid nga buli muntu awuliramu enkenyera alabe abasawo bamujjanjabe nga ebintu tebinaba kutabuka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com