AMAKA 500,000 ge gagenda okusooka okuganyulwa mu ntekateeka ya Gavumenti egendereddwamu okugabira ensimbi eri abantu abakoseddwa ekirwadde kya Covid 19 mu ggwanga lyonna.
Okusinziira ku minisitule ye byensimbi obuwumbi 53 bwe bugenda okusasanyizibwa mu kawefube ono.
Mu lukiiko lwe batuuzizza amangu ddala olw’etabyemu ne SsabaMinisita Robinah Nabbanja baamutegezezza nti bagenda kutandika n’amaka 500,000 agasinze okukosebwa ekilwadde kya Covid, era nga buli maka gagenda kufuna emitwalo 100,000.
Ebitundu bye Kampala ne miriraano bye bigenda okusooka okuganyulwa mu Kawefube ono era nga ebimu ku bibinja by’abantu abagenda okutunulirwa ennyo bye bino.
Abavubuka abakola mu ma saaluuni, abagoba ba Boda Boda, Abagoba ba zi Takisi n’abayambi baabwe bayite ba kkondakita, Abavubuka ababeera mu nzigota bayite ab’omuGetto nabalala okusinziira ku bakulembeze be bitundu.
SsabaMinisita Nabbanja era yayongedde nakinogaanya nti omuntu yenna alina essimu eyali eyiseeko emitwalo gya Uganda 500,000 ssi wakuganyulwa mu ntekateeka eno kubanga egendereddwamu kuyamba banaku sso ssi bagagga.
“Tosobola kummatiza nti oli muwejjere nga essimu yo ebadde eyitako bukadde na bukadde bwa nsimbi, ensonga eyo tugenda kugiteekako eriiso ejjogi okulaba nga tewali muntu noomu eyesola afuna ku sente za banaku” Nabbanja bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com