Ssabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo alagidde emisango gy’ababaka abawerera ddala 104 abawawabirwa mu kkooti enkulu okusooka okuyimirizibwa okutuusa nga ennaku 42 ezalangiriddwa pulezidenti Museveni okusobola okutangira ekirwadde kya Covid 19 okusaasana ziweddeko.
Ssabalamuzi kuno agaseeko okuyimiriza okuwulira emisango mu kkooti zonna era nalagira nti emisango emipya gyokka egy’enkizo gy’egigenda okutwalibwanga mu kkooti mu nnaku zino 42 ezalangiriddwa omukulembeze we Ggwanga.
Ababaka 104 ne ba kansala 6 bebaalopebwa mu kkooti enkulu nga ababaloopa bawakanya obuwanguzi bwabwe saako ne mpapula z’obuyigirize.
Dollo gamba nti kino kigenda kuyamba okukendeeza ku Bantu abayitirivu abeeyiwa mu ma kkooti agenjawulo nga kino kiyinza n’okuviirako abantu okukwatibwa saako n’okusasaanya akawuka ka covid 19, nga era kino bakikoze okusobola okutangira abantu okukafuna.
Ono era eggaddewo kkooti y’abalyake n’abakenuzi esangibwa e Kololo okutuusa nga June 18 omwaka guno nagamba nti emisango egyenkizo egyandibadde gitwalibwa mu kkooti eno kati gy’akutwalibwanga ku kkooti ya Buganda Road.
Alagidde abateekesa ebiragiro bya balamuzi mu nkola omuli okubowa ebintu byabo ababeera balemeddwa okusasula amabanja oba bawanyondo ba kkooti okugoba abantu ku ttaka ne mubizimbe byabwe nakyo kiyimirizibwe okumala ennaku 42 awatali kwekwasa kwonna.
yegasse ku Pulezidenti Museveni nalagira omuwendo gwabakozi mu kkooti zonna okukendezebwa okutuuka ku bitundu 30 ku 100 nga kino kigenda kuyamba ku kukendeeza ku mujjuzo mu kkooti nagattako okulagira abakozi ba kkooti okugondera amateeka agaatekebwawo okwewala ekirwadde kino.
Bino webigidde nga essiga eddamuzi lyakafuna abakozi baalyo abawerako nga bazuliddwa ne kirwadde kino era Ssabalamuzi nalagira abakozi ba kkooti bonna abaaliko naabo abazuuliddwa nga balina ekirwadde okugenda okukeberebwa n’oluvanyuma beeyawule mu bannabwe okumala ennaku 14.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com