OLUGERO olugamba nti akola obulungi asiimibwa lutuukira ddala mu mbeera abadde Meeya we kibuga kye Mukono George Fred Kagimu gy’alese eri abatuuze mu Kibuga kino nga bakyamuyayanira.
Yadde nga Kagimu yalekawo obw’aMeeya neyesimbawo ku kifo ky’obubaka bwa Palimenti obwa Munisipaari ye Mukono mu kulonda okwakaggwa, kyokka kino tekilobedde bantu be Mukono kumulaba nga omusajja atazzikawo.
Ono mu kulonda kuno yali ku kaadi ya kibiina kya DP era nga yakungaanya obululu obusoba mu 17,000, ekilaga nti yadde yawangulwa naye waliwo abamu ku batuuze mu kitundu kino abamulinamu esuubi, okusinziira ku bintu bye yali abakoledde mu myaka 5 gye baamukwasa obukulembeze bwe kibuga.
Ono twamutuukiridde mu makaage agasangibwa ku Lusozi lwe Beesaniya ekisangibwa mu Mukono Central Division era ne twesogga emboozi eyakafubo okumala essawa 2 nnamba natutegeeza bwati;
Najja mu Mukono oluvanyuma lw’okumaliriza okukola emirimu gyange wabweru we Ggwanga gye nali maze akaseera akawerako nga mpereza mu kkampuni ekola mu mafuta emanyiddwa nga Total, mu Nsi zonna ze nali nkoleramu nga nnondebwa okukulira bannaUganda bonna ababeera mu nsi ezo omuli France, Nigeria, Zambia ne ndala nyingi, nga omukisa ogwo gwampebwanga okusinziira ku bumanyirivu bwe nali nina mu bintu eby’enjawulo sako n’okwagala Ensi yange Uganda.
Kino kyampaliriza okusalawo okudda eka nga nina pulaani nnyingi mu mutwe kubanga nawummmula nkyalina amaanyi ate nga njagala nnyo okubaako ne ttafaali lye ngatta ku Nsi yange nga omuntu.
Nasalawo okugula ettaka e Mukono mu kifo ekimanyiddwa nga FESTINO CITE nga nalina ekigendererwa eky’okutandikawo ekifo kye by’ebyemizannyo omuli emmotoka ze mpaka kubanga naliko kyampiyooni we Ggwanga ate era nga nafuna ne ngule nnyingi okuva mu muzannyo ogwo.
Nayagala nkulakulanye ekibuga Mukono kunbanga nali nkizudde nga kiri kumpi ne Kibuga ekikulu Kampala nga bwe kiba ekifo kyaffe kino kitekeddwateekeddwa obulungi kiba kiyamba abalambuzi okujja ne balaba ebinti ebilungi Uganda ne Mukono by’elina.
Wabula ekimu ku bintu ebyanzija enviiri ku mutwe kwe kulaba nga mu kiseera ekyo ekibuga Mukono kyali tekilina Pulaani enteketeeke mu mateeaka, nga kino ky’amapaliriza okutandika okuzimba ensonga y’obukulembeze mu mutwe gwange.
Okumanya kino kyankuba wala nnyo era ne kinfiiriza ne Mikwano gye nali nsase yonna gye nali ntambuddeko ebweru we Ggwanga omuli Dubai ne Abu-Dhabi gye nali nsisinkanidde omulangiea waayo Dr. Muhamad Bin Sulaiman nga ono bwe yatuuka wano yakizuula nti ekibuga tekyalina Pulaani nteketeeke era ne yeekuba okuleeta wano ensimbi eziri mu buwumbi n’obuwumbi bwe nsimbi za Uganda.
Era twakizuula n’abakugu nti e kibuga kye Mukono tekyalina nguudo zikiyita bbali nga kirina enguudo 2 zokka ezitwala emmotoka okuli olw’eJinja olunene saako ne Kayunga zokka ekintu ekyasooka okuntiisa nga omuntu eyali alowooza okutamndika buzinensi ey’amaanyi mu kitundu.
Wabula oluvanyuma lw’abantu be Mukono okunnonda okubakulembera ekisanja eky’emyaka 5 nina essanyu nti wenviiridde mu bukulembeze nga ebitundu 70 ku buli kikumi ebya Pulaani ye Kibuga biwedde era ne nkulakulana egenda mu maaso.
Enguudo ezikoleddwa
Njagala okubategeeza nti enguudo zigguddwawo nyingi nga tukolagana n’abatuuze mu bitundu, kino nkikoze nga mpita mu kutuuza enkiiko n’abatuuze nga mpita mu bakulembeze baabwe ekinti ekisinze okunyanguyira ennyo nga ate bagamba nti kyali kyalema be nasikira.
Oluguudo Nyenje, Gulu ne Ntawo lwaggulwawo era kati abatuuze mu kitundu ekyo basanyufu okusinziira ku nkulakulana egenda mu maaso mu kitundu kino.
Twaggulawo enguudo eziyita emabega we ddwaliro ekkulu tusobozese abantu baffe okutambuza abalwadde okubatwala mu ddwaliro nga tebekolobezza nnyo, kuno twagattako okuggulawo ezo zonna ez’etolodde obutale bwaffe bwonna nga twagala abantu okutuukayo amangu nga tebatawaanye nnyo, saako n’okusobozesa abasuubuzi okutwala ebyamaguzi byabwe mu butale buno basobole okwefunira ku kigulira magala eddiba basobole okubaawo.
Serado, Bajjo Lufula nalwo lwakolebwa, nga kwotadde ne Nantabuulirirwa.
Oluguudo oluva e Katikkolo, kitale oluyita mu lutobazi olumanyiddwanga Nsomere nga luno lugatta Central Division Ne Goma nalwo lwaggulwawo era kati abatuuze bayitawo bulungi saako n’okuyambako okutwala kasasiro okuva mu Divisiona zonna ezikola e Kibuga Mukono.
Luno era lutuyambye nnyo okukendeeza ku mujjuzo gwe bidduka mu kibuga kubanga emmotoka ezimu eziba zigenda e Jinja ne Katoso kati ziyitira eyo.
Ebitundu bino olw’oluguudo luno bikulira ku misinde gya maanyi era nga ne ttaka mu kitundu kino lifunye omuwendo olw’abagagga abagengayo buli kadde.
Eno era twasalawo okukuza eddwaliro lyayo okuliggya ku ddaala lya Health Centre II ne tulituusa ku mutendera gwa Health Centre III saako n’okukola amassomero gaayo ne kigendererwa eky’okukulakulanya ekitundu.
Jjoggo, Nnyenje Oluyita mu kiwonvu kye Buddugala nalwo twalukola okutuukana n’omutindo ne tutindira emigga gyonna era kati abakola omulimu gw’okusomba omusenyu mu kitundu kino n’amataffari emirimu gyabwe gitambula kinawadda.
Njogezi, DFI, Ntawo nalwo twalukola era kati emmotoka zitambula bulungi okutwala abakungu abasula mu bitundu ebyo.
Kame we booleza emmotoka oluguudo olwo nalwo twaluggulawo era kati abantu baffe basobolera ddala okusala bulungi okudda e Lweza ne bagatta ku lunene olw’eKyetume Katosi.
Ddandira, Kigombya, Mbalala Sun Share, nalwo twalukola nga kati abantu tewali kibaleeta mu kibuga wakati abava e Katosi okudda e Jinja bakutulira awo.
Rwenzori, Kiwanga okutuuka e Sonde nalwo lw’akolebwa bulungi kati lugattira ddala ku Kira.
Kye nazuula nga oyagala okukulakulanya abantu bo obulungi tobawa sente gwe kola ku nguudo zaabwe buli kimu kyekola kyoka.
Era oluvanyuma lwa Gavumenti okulaba nga tufubye eky’etaagisa okukola enguudo mu kitundu kyaffe, ezimu yasalawo okuzitwala ez’ekolereko mu kisanja kino.
Ebisoomooza
Ebimu ku bisomooza ekibuga Mukono bye kilina kwe kuli omuwendo gw’abantu ogw’eyongera buli kadde, kubanga okusinziira mu kubala abantu kwe twakola mu biseera bya Covid kati tulina abantu 500,000 ate nga basuubirwa okweyongerako emirundi 2 mu myaka 10 egijja mu maaso.
Ensimbi eziwerezebwa okuva mu Gavumenti ey’awakati okukola ku nguudo zaffe ntono nnyo yadde nga tulina ebyuma eby’atuwebwa saako ne bye twasaka mu mikwano gyaffe.
Enkwe okuva mu bannabyabufuzi banaffe saako n’okulemesa enkulakulana nakyo kibadde kizibu nnyo naye ekimu ku binsobozesezza okubiwangula n’okutuuka nga mulaba waliwo ebikoleddwa ebilabwako mbadde n’omutwe omukkakkamu.
Ebisinga okuleeta abantu mu Mukono
E Ttendekero lya UCU likoze kinene okuleeta abantu mu Mukono kubanga abaana bangi abava mu bitundu eby’enjawulo bwe bamala okusoma tebatera kuddayo wabwe bano bafuuka basenze abannamaddala.
Amakkolero, Abantu abakola mu makolero okuli Mbalala ne Namanve bonna basula mu Mukono ate bwe bafuna ku sente nabo bafuukira ddala batuuze.
Abakozi ba Gavumenti, olw’okuba Kamapala ali kumpi ne Mukono , kino kileeta abakozi ba Gavumenti ababa bavudde mu bitundu e byewala okukolera e Kampala ne batandika okusula mu Mukono era bano nabo oluusi bafuukira ddala batuuze oluvanyuma lw’okugula ettaka ne bazimba.
Tuleseewo Pulaani eziwerako okuli ez’amassomero saako n’amalwaliro ze tusuubira nti banaffe abatudidde mu bigere bagenda kubitwala mu maaso zisobole okuyamba abantu baffe.
Eddwaliro eddene General Hospital n’ebyobulamu
Lino we twajjira mu buyinza twasanga liri ku ddaala lya Health Centre IV, naye oluvanyuma lw’okuyita mu biwandiiko bye twasangawo twasobola okujjukiza omukulembeze we Ggwanga ekisuubizo kye yasuubiza mu kiseera ekyo era Gavumenti ey’awakati n’elikuza okutuuka ku mutendera gwa Hospital.
Pulezidenti yasooka n’atuwa ensimbi obukadde 300 okuyita mu Disitulikiti era ne tutekawo ekizimbe galikwoleka abalwadde we batuukira saako n’okufuna obujjanjabi era kati kiri mu kumalirizibwa nga kyamyaliriro 3 nga kigenda kuwementa ensimbi obukadde 750.
Ekitongole kya Makerere Waterid Project, kino nakyo kyatuyamba ne kituwa ekizimbe ekirungi ddala okuli woofiisi z’abakozi be ddwaliro saako n’abasawo abakugu we balabira abalwadde aw’omulembe.
Tusobodde okuzimba ekizimbe abakyala we bazaalira mu ddwaliro lyaffe e Goma saako n’okuddabiriza amalwaliro gaffe gonna agali ku mitendera egy’enjawulo.
Ndese tutaddewo okusaba mu Gavumenti esobole okusumusa eddwaliro lyaffe elye Goma okutuuka ku mutendera gwa Health Centre iv.
Ndese ekiteeso nga kkanso kye twayisa eddwaliro lyaffe okusigala nga liddukanyizibwa Munisipaari, kubanga ffe tubadde tulilabirira, okulisakira, okusasula abakozi ate nga ne kyapa kye ttaka kwe liri kiri mu mannya ga Munisipaari, kye tusuubira nti Munisipaari ekyalina obuvunanyizibwa okuliddukanya obulungi, kubanga byonna bikolebwa kutumbula buwereza obulungi eri abantu baffe.
Kino twakyesigamya ku lukiiko lwe twalimu ne Minisita we by’obulamu Jane Ruth Acheng saako n’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule eno abaatusaba tukwataganire wamu ne Disitulikiti okulaba nga tukola emirimu ku ddwaliro egiyamba abantu ba bulijjo.
Ndowooza singa Ssentebe omuggya owa Disitulikiti ne Meeya anziridde mu bigere bakola ekyo eddwaliro lijja kutambula bulungi era abantu baffe bajja kuganyulwamu nnyo okusinga okusika omuguwa mu mpereza, kye ndowooza nti tebiyamba.
Mukono esobola okufuuka ekibuga ekinene eky’etongodde?
Kituufu nandyagadde Mukono okufuuka ekibuga ekinene ddala, kubanga buli ekyetaagisa Mukono ekilina okuviira ddala ku malwaliro, amassomero amanene, amakolero ge tulina ne bialala.
Enguudo, singa Gavumenti esobola okulongoosa enguudo zonna ze tugguddewo ne zifuuka za kkolaasi e kibuga kiba kisobola okutambula obulungi n’okusinga ebibuga ebilala byonna.
Pulojekiti ezifuna e Sente enyingi okuva mu bitongole nga World Bank nabyo byetaago okujjako mu Mukono bikolemu emirimu kubanga abantu abawangaaliramu balina buli busobozi.
Entalo
Entalo ezibaddewo ezisinze zaali zaasibuka ku bantu abalowooza nti be baalina okubeera bokka era nga okuwulira nti bagenda kuvuganyizibwa wakiri ne bilungi ebyandikoleddwa basalawo okubiyiwa, okugeza nga bwe twali twagala okuzimba omunaala mu kibuga wakati twalemesebwa nga kwotadde n’okuzimba oluguudo olwali lugenda okusalako ku mugotteko mu kibuga.
Abantu abamu bawubisibwa nga bategezeddwa nti bwe tubagamba okujjawo obuyumba bwabwe ku makubo nti wano twali twolekedde okubagobera ddala mu kibuga ekintu ekyali eky’obulimba, naye byonna twamala ne tubivvunuka.
Ebikoleddwa ebilala
Twasobola okuzimba ekizimbe ky’abavubuka ekimanyiddwanga Youth Centre ku kyalo Nakabago nga kino kyali kkikulungudde emyaka 10 nga kili ku musingi naye mukama natuyamba ne tukimala.
Kati abanziridde mu bigere kye balina okukola kwe kusooka okumanya abavubuka bali bameka mu kibuga kyonna, olwo balyoke babatekeretekere kubanga buno bugenda kuba nga buddukiro bwabwe gye baloopa ensonga ezibaluma.
Eby’obutonde ne Kasasiro.
Twafuna ekimotoka ekinene ddala okuva mu kitongole ekigatta ebibuga ebiri ku lubalama lwe nnyanja Nalubaale LAVLAC kituyambye nnyo saako n’enguudo zetukoze ezigatta division zombie.
Kiki ekiddako nga toli Meeya
Nina obuvunanyizibwa bungi nnyo naddala mu kitongole kya Rotary, nina ekitongole kyange eky’obwanakyewa ekikola mu kutaasa obutonde bwensi, Bizinensi zange endala, era ne bwemba mpereddwa obuvunanyizibwa okuwereza mu Gavumenti obusobozi mbulina abammanyi bammanyi.
Nkyali mumalirivu nti n’oluvanyuma lwe myaka 5 ngenda kukomawo mu lw’okaano nvuganye ku ntebe y’obubaka mu Palimenti obwe kibuga kye Mukono.
Kino ngenda kukikola kubanga nkakasa nti abantu be Mukono babadde bakyandabamu obusobozi nga ojjeeko omuyaga gw’ebyobufuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com