ABADDE Nampala wa Gavumenti mu Palimenti Ruth Nankabirwa ayambalidde abadde omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga namulangira okuyisa amaaso mu biteeso by’olukiiko olw’okuntikko olw’ekibiina kya NRM CEC nga kwotadde n’ababaka banne kyagamba nti kuluno tekigenda kukkirizibwa.
Nankabirwa agamba nti abadde mukiise mu CEC okuva mu mwaka gwa 2015 era nti yeetabye mu kusalawo okw’ekibiina okumala emyaka gyonna gyabaddeyo nti kyokka kuluno talaba lwaki Kadaga tassa kitiibwa mu nsalawo ya Kibiina.
Okwogera bino Nankabirwa abadde mu kusaba kwe kyenkya okubadde ku wooteeri ya Sheraton mu Kampala, nga mubaddemu n’okwebaza Katonda olw’ekisanja okuggwako mu mirembe.
“Banange Palimenti elina enkola yaayo mu kusalawo eby’okukola nga ne kibiina kya NRM bwe kityo, tewabaawo muntu yenna abalimba nti tetwatuula kusalawo nti Kadaga alekere munne Oulanya ekisanja ekiddako, kino twakikola mu kukkanya saako n’okwagaliza ekibiina” Nankabirwa bwe yagambye.
Bino we bigidde nga embilanyi ya 2 Kdaga ne Jacob Oulanya battunka ku kifo ky’obwa Sipiika, kyokka nga oludda lwa Oulanya lulumiriza Kadaga okulemera mu kifo nga ate bakkaanya mu mwaka gwa 2016 bamulekere amaleko emyaka 10 alyoke ekintu akite.
Wabula bino aba Kadaga bagamba nti okukkanyagana kuno tekubangawo yadde, kyokka nga omu ku baali mu lukiiko olwo era nga ye yali Namapala wa Gavumenti eri mu buyinza Ruth Nankabirwa akilemeddeko nti kyali bwe kityo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com