OLUKIIKO lwe kibiina ekiri mu buyinza NRM olw’okuntikko (CEC) lutuula leero ku mande okusalawo ku ani agenda okukwatira ekibiina kyabwe bendera ku kifo ky’obwa Sipiika mu Lukiiko lwe ggwanga olukulu.
Olunaku lwe ggulo abakiise bonna abatuula ku lukiiko luno bakebereddwa obulwadde bwa Covid, nga akamu ku bubonero obulaga nti baakutuula era Ssentebe Yoweri Kaguta Museveni yagenda okulukubiriza.
Embilanyi esimnga kuba wakati wa Sipiika aliko kati Rebecca alitwala Kadaga wamu n’omumyukawe Jacob Oulanya era nga bonna kati bakamala emyaka10 mu bifo bye balimu.
Kigambibwa nti mu lukiiko luno Oulanya alianamu enkizo nnene nnyo kubanga abantu beebamu bano baatuula mu mwaka gwa 2016 ne basalawo nti Oulanya alekere Mukyala Kadaga, eyali akakasizza olukiiko nti tagenda kudda mu kifo kino.
Kino kisuubirwa okukaluubiriza abakiise kubanga abasinga obungi mu lukiiko luno baalimu okujjako abapya abatonotono.
Kadaga ne Oulanya ennaku zino babadde beeyogerera ebisongovu nga kino kyavaako n’okuyimiriza kkampeyini ku kifo kino, era ne Ssabawandiisi we Kibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba navaayo naasaba bano bombiriri okukomya okwelumaluma.
Yadde nga abakulu bano baakomebwako obutaddamu kunoonya kalulu, ebyo tebabiwuliriza kubanga ababadde bagendera ddala mu maaso n’okukuyega ababaka okubalonda.
Kati kisigalidde Lukiiko luno okusalawo ku ani agenda okukwatira ekibiina kya NRM bendera kyokka nga n’abamu ku babaka ab’oludda oluvuganya baasalawo ddaokuwagira abamu ku bano yadde ba kibiina kiri mu buyinza.
Olunaku lwe ggulo Kadaka aliko ababaka okuva mu buganda abaggya be yasisinkanye abaabadde bakuliddwa omubaka omulonde owa Buikwe South Dr. Micheal Bayiga Lulume, era ne bamusuubiza okumuwagira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com