ABABAKA abaalondebwa okukiikirira ebitundu eby’enjawulo mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu olwaleero batandise okukuba ebilayiro byabwe mu butongole, basobole okutandika okukola nga amateeka bwe gagamba.
132 bebasuubirwa okulayira olwaleero okuva ku ssaawa 2 ez’okumakya, era nga omubaka Jesca Ababiku omukyala akiikirira Disitulikiti ye Adjuman yasoose okulayizibwa.
Omulimu gugenda kukolebwa kilaaka wa Palimenti nga ayambibwako abakozi abalala.
Akulira eby’empiliziganya mu Palimenti Hellen Kaweesa agambye nti ababaka balina okukwata obudde kubanga balina essawa ntono nnyo ate nga omuwendo gwabwe mungi bwogerageranya ne Palimenti eziwedde.
Agamba nti bano bawereddwa olukusa okuleeta abantu 3 bokka, nga tenbajja kukkiriza mujjuzo mu Kololo olw’okwanguya emirimu saako n’okutangira ekilwadde kya Covid.
Enguudo ezisinga naddala ezigatta ku Palamenti zaggaddwa okusobozesa Ababaka okutambula obulungi saako n’okukuuma obudde.
Mu bagenda okulayizibwa olwaleero mulimu n’omubaka wa Nakawa East Eng. Ronald Balimwezo, nga ono agenda kusooka kugenda ku kitebe kye Nakawa gyabadde nga Mayor asooke aweeyo obuyinza olwo alyoke ayolekere Kololo okukuba ekilayiro okufuuka omubaka omujjuvu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com