MUNNAMAWULIRE Abbey Sewakiryanga amanyiddwanga Basajja Mivule avudde mu mbeera nazza omuliro eri abamuvuma nga agamba nti amaze okubakolako okunonyereza okumala nga kati ekiddako bagenda kwabika ku mikutu gye mpuliziganya asobole okubuusa bannaUganda abalimbibwalimbibwa.
Mivule agamba nti kawefube ono gwaliko agendereddwamu okuzibula bannaUganda amaaso abalimbibwalibibwa abantu abeeyita ba bulooga (Bloggers) abasiiba ku mikutu nga bavuma abantu ne kigendererwa eky’okufuna ensimbi okuva mu bannaUganda abali ebunayiira.
Ono agamba nti abasinga okuvuma wano mu Uganda ne bweru we Ggwanga guno baagufuula muzannyo gwabwe mwe bayita okwebeezaawo nga abantu, era nga mwe balabiririra ne Famire zaabwe, kyagamba nti tekyandibadde kibi naye basukka.
okwogera bino yabadde ku Urban TV nga akyaziddwa okwogera ku Uganda butya bwenabeera oluvanyuma lwa Pulezidenti Museveno okulayira okuddamu okukulembera Uganda ekisanja ekinamutuusa ku myaka 40.
Yanokoddeyo munnaUganda Raymond Soulfa ono amanyiddwanga PENG PENG ali mu Ggwanga lya Sweden gwe yayogeddeko nti ono talina mulimu gw’akola okujjako okusasulwa n’avuma nasobola okubeerawo.
Yagambye nti ono omulimu gwe yali akola e gyali kati yali mugoba wa mmotoka z’amigugu kyokka, bakamaabwe bwe baakizuula nti nti enjaga eyitiridde kwe kumugoba nga kati bwavuma abantu ab’obuvunanyizibwa mu Ggwanga lw’afuna ekyokulya.
“Peng Peng namunonyerezaako okuva e Bunamwaya gye bamuzaala ne nkizuula okuviira ddala mu bantu be kika kye nti yatunda ettaka lye kika lyonna n’alimalawo olwo nalyoka addukira Entebbe neyekweka, era nakizudde nti okugenda e Sweden yamala kubaako omugagga wano mu Kampala gwabbako ensimbi obukadde 6 nga amusuubizza okumuletera Bebe Cool amuyimbire mu kivvulu kye, olwakwata ku ssente naafuna tikiti ye nnyonyi n’amalamu omusubi n’akati bamunoonya.
Bwe yatuuka e Sweden yategeeza abakola ku kuyingiza abantu mu ggwanga nti ye mulyi wa bisiyaga Museveni ayagala kumutta, era nawebwa obutuuze nga kati gyasinziira okuvuma n’afuna eky’okulya.
Fred Lumbuye naye bwatyo bwaba tavumye bantu nakulimba eky’okulya waba tewali kubanga naye emirimu gye yali akola ebweru we Ggwanga gyonna gyayononeka lwa mwenge n’abakazi, kati natandika okwefuula nti e Ggwanga limuluma nnyo.
Oyo ekirungi abantu bagenze bamubuuka kubanga bazudde nti ebintu byasinga okwogera byona biba byabulimba bwerere era taba nabujulizi” Mivule bwe yagambye nga bwe yewera okwongera okufungula abavuma abantu ku mikutu.
Yanyonyodde nti waliwo abavubuka abakola ku Leediyo emu mu Kampala abaamuvuma era nagenda mu maaso n’abawabira ku kitebe kya bambega e Kibuli, nti kyokka yali yakafuna abaselikale ate ne wabaawo omugagga w’omuKampala amukubira essimu n’amutegeeza nti amwegayiridde takwata baana abo era abalina bali mu makaage.
“Natuuka mu maka g’omugagga nga obuvubuka buli awo bufukamidde era ne bunetondera nti bwali bunoonya kyakulya okuva eri ababusasula okunvuma ne neekuba mu mutima engeri gyendi musajja mukulu ne mbusonyiwa” Bwe yagambye.
Yaweze nti kati obwanga agenda kubwolekeza kunoonyereza nga munnamawulire omutendeke azuule buli muvumi ne bimukwatako asobole okuyamba bannaUganda abawubisibwa abantu abavuma abantu b’obuvunanyizibwa wakati mu kunoonya ekyokulya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com