WABADDEWO akasattiro mu bitundu bye Kyebando mu Kampala ku lunaku lw’omukaaga akawungeezi omuvubuka bwe yalabirizza omugagga w’omuKampala Desh Kananura n’eyesogga emmotoka ye nabbamu ensimbi nga kw’otadde ne mmundu 2.
Kigambibwa nti Desh yabadde alina ku kkubo wasimbye emmotoka ye ey’ekika kya Range Rover Sport nga aliko bye yabadde akola, ekyaddiridde ye Muvubuka eyamulabirizza n’aggulawo emmotoka mu ngeri etategerekese nakuuliita ne mmundu 2 saako ne nsimbi ezisoba mu bukadde 10.
Okusinziira ku Desh agamba nti omutima gw’amukubidde nti walabika waliwo ekikyamu ku mmotoka ye ne kyaddiridde kwe kulengera omuvubuka eyabadde afuumuka emisinde nga alina byasitudde naye kwe kutemya ku bantu abaabaddewo omuyiggo ne gutandika, oluvanyuma abapoliisi ku Poliisi ye Kyebando nabo beegasseko ne bongera okunoonya.
Kyategerekese nti abamu ku batuuze be Kyebando baabadde bamanyi omuvubuka ono era ne bafeffetta yonna gye baabadde bamusuubira okubeera.
Kyategerekese nti ono wandiba nga waliwo eyamutemezaako nga bwe bamuyigga n’asuula emmundu zombi kyokka n’eyeyongerayo ne nsimbi, baagezezzako okumunoonya nga talabikako kyokka abatuuze ne Poliisi ne bazuula emmundu za Kananura era ne zimuddizibwa.
Amyuka Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti amawulire g’okubbibwa kwe mmundu ne nsimbi za Kananura baagafunye era Poliisi ye kyebando omulimu gw’okubinoonya n’egukola kyokka neezuulayko mmundu zokka.
Yagambye nti kawefube w’okuzuula omumuvubuka eyakoze omusango guno akyagenda mu maaso era nga wanakwatibwa wakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka.
Yalabudde abavubuka okwewala obubbi obwekika kino nagamba nti wakati mu kunoonyereza bajja kukwata naabo abalala abagambibwa okubeera emabega w’obunyazi buno nti kubanga okusinziira ku mawulire ge balina kyandiba nga kino ekibinja kya babbi mu Kyebando kinene.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com