OMUKULEMBEZE we kibiina kya National Unity Platform NUP Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu yeesamudde ekibinja kya bagambibwa okuba abakwanaganya be mirimu kibiina kya NUP mu ggwanga lyonna abasisinkanye Pulezidenti Museveni mu makaage e Ntebbe, nagamba nti bano tabamanyi.
Okusinziira ku mukutu gwe ogwa Twitter Kyagulanyi agamba nti bano batereddwawo bantu abaagala okulaga Pulezidenti nti bakola nnyo okusobola okumalamu ekib iina kua NUP amaanyi ne bigendererwa byabwe ebitamanyiddwa.
“Abo bonna ffe tetubamanyi era teri muwagizi waffe nga yawebwa n’obukulu asobola kugenda nasisinkana Pulezidenti, kubanga abantu baffe bakyalina obulumi bwabwe bungi ku mitima olw’ebyaliwo mu kulonda okuwedde” Kyagulanyi bwe yagambye.
Ku lw’okusatu amawulire gaatandika okuyitingana nti waliwo abakulembeze ba NUP abalabiddwako nga beesogga amaka g’obwa Pulezidenti Entebbe era ne babaako akafubo akakulungudde essawa 2 ke baabaddemu n’omukulembeze we Ggwanga.
Kino kyeyolekedde mu bifananyi ebyafulumidde ku mukutu gwa Pulezidenti ogwa Twitter era abakulembeze mu NUP ne batandika okutuula obufofofo.
Mu nsisinkano eno Museveni yakubirizza abavubuka okwewala okukola effujjo, nabategeeza nti mu kisanja kino alina eby’okukola bya bavubuka bingi nnyo nga bwe batyo tebalina kutuula kulera ngalo saako n’okukozesebwa bannabyabufuzi.
Yabategezezza bulijjo okubeera abeerufu eri Gavumenti saako n’okugibuulira ebibaluma bisobole okukolebwako amangu ddala, nabaaniriza okuva mu by’obufuzi bye yayise eby’obulimba bye yagambye nti tebilina kye bigenda kwongera ku nkulakulana ya Ggwanga.
Minisita we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine era nga yoomu ku beetabye mu lukiiko luno yategezezza Pulezidenti nti abantu bano baasazeewo okusuula ebikolwa byonna eby’effujjo ebibadde bikumwamu omuliro abakulembeze baabwe ab’okuntikko, kyokka nabalabula nti ssinga baddamu okugezaako okutabula eddembe mu Ggwanga eyabalula eggya kuba esiridde.
Abasinga ku bano nga baabadde bavubuka baategezezza Museveni nti eby’okwekalakaasa baabitadde, era ne bamusaba mu kisanja kino kyagenda okulayira abalowozeeko nga abavujjirirayo ku kasente bongere mu mirimu gyabwe gye bakola nabo bave mu bwavu obubayonka obutaaba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com