ABABAKA mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu kyadaaki bayisizza etteeka ku kusadaaka, elibadde limaze akabanga nga ly’ekenenyezebwa abakungu abatuula ku kakiiko ka mateeka.
Lino lilimu nti bw’okwatibwa nga osadaaka, osadaase oba okuyambako mu mulimu gw’okutta omuntu yenna nga werimbise mu kusadaaka ekibonerezo ekisembayo nga gukusinze kuttibwa.
Kino kitegeeza nti singa etteeka lino omukulembeze we Ggwanga alisaako omukono, buterevu ligenda kussibwa mu nkolaokutandika n’omwaka guno.
Ababaka era baataddemu nti bwe kiba kisoboka omuntu akwatiddwa mu kikolwa kino era n’obukakafu ne buzuulibwa nti yakikoze yeetaaga kusimba mu kkooti ya maggye, kubanga kikolwa kya bugwagwa nnyo.
Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga bwe yabadde ayogera ku tteeka lino yagambye nti bulijjo ab’enganda z’abantu abasadaakiddwa babadde bamuli bubi olukiiko luyise etteeka lino basobole okufuna obwenkanya, era nagamba nti alina esuubi singa Pulezidenti aliyisa abantu abo bajja kufuna obwenkanya ku lw’abantu baabwe abattibwa mu bikolwa bino.
Yayongeddeko nti buli kaseera abantu ab’enjawulo bamubuuza nti obwenkanya mu musango gwa musaayi muto Kasirye buli ludda wa, najjukiza ababaka omusango gwa Kato Kajubi.
Minisita omubeezi ow’okutekeratekera eggwanga David Bahati yagambye nti ekibonerezo kino kyetaagisa okw’ongereramu ddala amaanyi eri abo abanenyigira mu kusadaaka abantu abakulu nga kwotadde n’abaana abato.
Etteeka lino era ly’eyongerayo ne likwata ne kubanakola ogw’okutambuza abantu abagenda okusaddaakibwa, abawa amagezi ku bikwatagana n’okusaddaaka saako n’okukozesa ebitundu by’omubiri gw’abantu nga bamaze okubatta nti nabo lijja kubakwatira wamu.
Ebitongole by’obwanakyewa nabyo tebijja kulutonda mu tteeka lino, kubanga bwe kinazuulibwanga nti nakyo kyenyigira mu kuyambako omulimu guno mu ngeri emu oba endala kyakuggalwa ne bannanyini kyo baggalirwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com