Ssabalabirizi eyawummula Kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali kyadaaki yetondedde ekkanisa n’abakulisitaayo bonna mu Ggwanga, olw’ebyaliwo gye buvuddeko bwe yakwatibwa mu kukoowa ky’obwenzi.
Ntagali agamba nti mu kiseera kino amaze okwebuulirira mu mutima gwe nakakasa nti Alina okwetondera ekkanisa n’abakulisitaayo bamusonyiwe kubanga alabye nga kyetaagisa.
Okwetonda abadde mu Kkanisa Lutikko e Namirembe, wakati mu kusaba omubadde okujaguza ekkanisa ya Uganda okuweza emyaka 60, nga ebijaguzo bino bigenda kumala omwaka mulamba.
“Neetondera ab’omumaka gange, Ekkanisa, Abakulisitaayo ne bannaUganda bonna olw’ekikolwa ky’obwenzi ekyaliwo gyebuvuddeko banange munsonyiwe neetonze” bwatyo Ntagali bwe yagambye nga mwetoowaze.
Ye Ssabalabirizi was Uganda Kitaffe mu Katonda Steven Kazimba Mugalu yategezezza nti teri awalirizza Ntagali kwetondera Kkanisa nti wabula yakikoze nga muntu aboneredde olw’ebikolwa ebitaali bya bwa Katonda.
gyebuvuddeko Ntagali yakwatibwa mu kikolwa eky’obwenzi nga Ali ne mukyala woomu KU bawereza banne mu kkanisa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com