KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddeyo nanyonyola ku mbeera Ssabasajja gyalimu saako n’obulwadde obumuluma nga kino kibadde kyogeza abangi ebikankana.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku mbuga enkulu ey’obwaKabaka e Bulange Mengo, Mukuuma ddamula ategezezza nti Ssabasajja ekyamazima tawebwanga ku butwa nga ebigambo bwe bibungesebwa ku mikutu emigatta bantu, era nakinogaanya nti buli muntu asobola okufuna obulwadde ne butawanya omubiri gwe nga kwotadde ne Namunswa.
Ategezezza nti obulwadde obutuufu obutawanya Ssabasajja buyitibwa ALAJE mu lungereza (allergy) nga buno buletebwa olumu emmere gye tulya, enfuufu ne bilala bingi.
“Bwe twali tumukulizaako amazaalibwage ag’emyaka 66 abantu abasinga baakizuula nti omutanda yali talabika bulungi, naye nga bwe mumanyi mu bulamu nga abantu tufuna okusomozebwa kungi mu bulamu bwaffe, era obulwadde buno obwa Alaje bumutawanyizza nga asanga obuzibu mu kussa era ne bwaba nga atadde masiki ku mutwe” Katikkiro bwagambye.
” Ezo zonna engambo ezibungesebwa nti Kabaka yawebwa obutwa ssi ntuufu nakamu era tezirina musingi gwonna, Tusaba abantu ba Ssabasajja okuzisambajja n’obutazimalirako budde.
Omutanda alina abasawo bakugu abamukolako era nakati ali ku bujjanjabi tumanyi nti agenda kubeera bulungi” Katikkiro bwe yayongeddeko.
Abaganda ennaku zino babadde bayomba nga baagala Katikkiro aveeyo ategeeze Obuganda lwaki Kabaka waabwe ali mu mbeera ey’obukosefu nga tewali kunyonyolwa kwonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com