Dr.Mbusa Kabagambe Patrick omugole eyabulawo KU lunaku lw’omukaaga era lwe lwali olunaku lwe olw’okutukuza obufumbo kyadaaki azuuse nattottola ensonga ezamuviirako okubulawo.
Ono olubadde okulabika nategeeza nti yali yetaaga obudde okusooka okuzza ebirowoozo bye mu nteeko olw’ebyali bigenda mu maaso mu bufumbo bwe nadda mu kiseera kye yali agendamu ekyembaga.
Wabula Kabagambe teyalambuludde bulungi bizibu ki ebyamuviirako okukola ekyo, ekyavaako abantu be saako n’abewabwe w’omukyala gwe yali agenda okuwasa okuswala nga tebamulabako mu kiseera kye mbaga.
Wabula yategezezza nti yali yagambako abamu ku Bantu be abaalina obavunanyizibwa ku kuteekateka embaga nti yali abivuddemu nti kyokka yekangira ku mikutu gya mawulire nga gilaga nti yabuze, ekintu kyagamba nti kikyamu ddala kubanga bonna baali bamanyi ekigenda mu maaso ne mukyalawe yenyini nga mwomutwalidde.
Wabula abamu ku mikwano gya Kabagambe baategezezza nti byonna bye yayogedde byabadde bya bulimba nti kubanga oluvanyuma baakitegedde nti yali afunye obutakkanya ne mukyalawe ku lunaku lw’okuna nga embaga ya lwamukaaga, bwatyo n’asalawo okumubonereza mu ngeri eyo gye bagambye yalaze obukopi obw’ekika ekyawaggulu ennyo.
Omugole omukyala Christabella Kobusingye yavaayo ku lunaku lw’okutaano nategeeza abobuyinza nti omwami we Kabagambe gwe baali bagenda okugattibwa naye abuze, era mu kiseera ekyo n’amasimu ge agaali gamanyiddwa gonna gaali tegaaliko, Poliisi netandika omuyiggo okuzuula omugole omusajja.
Amyuka Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire yategezezza nti baafunye amawulire nti Kabagambe alabise, nagamba nti bagenda kumuyita abeeko ensonga zabategeeza ku kyamuviirako okwebuzaawo ku lunaku lwe Mabaga ekyateeka ab’oluganda lwe ku bunkenke.
Embaga Eno yali egenda kubeera mu kkanisa ya All Saints e Nakasero era baali bagenda kusembeza abagenyi baabwe ku Silver Springs e Bugoloobi okusinziira ku kaadi ezaali ziyise abagenyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com