Wabaddewo esuubi eri Gavumenti okukendeeza ku budde bwa Kafiyu mu Ggwanga, oluvanyuma lwa Bayisiraamu okuwanjagira omukulembeze we Ggwanga abakenderezeeko ku budde olw’ekisiibo kyabwe ekinatera okutandika.
Mu kiseera kino essuubi ttono nnyo olw’okuba Minisita Obiga Kania omubeezi owe nsonga z’omunda nga ono ye yakiikiridde SsabaMinisita okunyonyola ku nsonga zino yalemereddwa okuttanya obulungi ensonga za Kafiyu nga agamba nti bakyalindirira olukiiko olw’atekebwawo Pulezidenti okukwasisa amateeka ga Covid 19.
Minisita Kania yategezezza olukiiko lwe Ggwanga olukulu nti tebalina kye bayinza kukola mu kiseera kino okujjako olukiiko lwa Covid, era nagamba nti okusaba kwa bayisiraamu bakutwalayo dda eri abakulu nga balindirira nsalawo yabwe.
Yategezezza nti alaba tewaliiwo kyamaanyi eri Abayisiraamu okubongezaayo obudde, nagamba nti essawa ze balina okufaayo ennyo okumaliriza ebyabwe zirina kuba wakati wa 2:00-3:00 ez’okiro basobole okukwata obudde bwa Kafiyu.
Yayongeddeko nti ensonga za Kafiyu tezijja kutaataganya budde bwa kisiibo kya bayisiraamu nabasaba okufaayo okukwata obudde nga bakola emirimu egyekuusa ku kisiibo.
Omubaka wa Kalungu Joseph Sewungu yatadde SsabaMinisita ku nninga aveeyo alungamye ensonga za Kafiyu, nagamba nti bagenda kumulinda ajje nti kubanga omubaka gwe baabadde batumye alabika ensonga teyazitutte nga nkulu.
Ekiteeso kino kyaleetebwa Omubaka wa Kawempe North Mu Palimenti Latiff Sebaggala nga alaga nti Abayisiraamu banditaataganyizibwa enkola ya Kafiyu mu kiseera kye kisiibo.
Ono yali ayagala Gavumenti ne Pulezidenti baveeyo bongezeyo kko ku budde kafiyu mwatandikira okukwasibwa ku makubo kubanga abayisiraamu bagenda kuba abatambula nga obudde buyiseeko ku ssawa ezalagirwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com