ABAMU ku bakulembeze mu Diini ye kiyisiraamu baagala abakulu ku kitebe ky’obuyisiraamu e Kibuli banyonyole lwaki omukulembeze waabwe Supreme Mufti Sheik Silimaani Kasule Ndilangwa yalekulidde mu mbeera etategerekese.
Ndilangwa yalekulira mu kiro eky’akeesa olw’okutaano ekintu ekyakuba ewala abamu ku bayisiraamu n’abakulembeze baabwe.
Kigambibwa nti Ndirangwa okulekulira yamaze kubaako obutakkaanya bwe yalengedde ku kitebe ekikulu e Kibuli wakati mu bakulembeze ab’okuntikko okusinziira ku njogera ye nga agamba nti tajja kubusobola.
Ono abadde amanyiddwa nnyo nga omu ku bakulembeze abasinze okugatta Abayisiraamu, era ku mulembe gwe tewabaddewo nnyo kusika muguwa wakati we biwayi 2 okuli ekye Kampala mukadde saako ne Kibuli.
Ono era abadde mukwata mpola nnyo nga ensonga z’obuyisiraamu ne Ggwanga azigenda mpola era nga buli kadde abadde amala kwetegereza nnyo nga tanaba kubaako kyayogera, olumu abamulwanyisa kye babadde batwalanga obunafu bwe.
Era kigambibwa nti waliwo ekibinja kya Bayisiraamu e Kibuli abamaze ebbanga nga bamulwanyisa nga bano ne mukulondebwa tebaamwagala nga baaliko abalala be baagala okutuula mu ntebbe eno.
Ensonga y’okukolagana ne Gavumenti naye ebadde etabula abamu ku be Kiwayi kye Kibuli era bano kigambibwa nti babadde tebaagalira ddala kulaba Ndilangwa nga atabaganye ne Pulezidenti Museveni okubaako ensonga eziruma abayisiraamu ze boogerako, nga n’olumu omu ku bakulu e Kibuli yagamba Ndilangwa maaso ku maaso nti abalyamu enkwe.
Ensonga ze mmotoka ez’awebwayo Gavumenti eri abakulira eddiini mu bitundu bye Ggwanga eby’enjawulo nayo yafuukira ekizibu musajja wa Katonda Ndilangwa, olw’okusalawo nga omukulembeze ziwebwe abakulembeze ba Bayisiraamu mu bitundu abamanyiuddwanga ba Disitulikiti kaazi.
Kigambibwa nti emmotoka zino abamu ku bakulembeze e Kibuli baali baagala kuzeddiza kyokka nasalawo ziwebwe basajja ba Katonda abakola emirimu nga tebalina ntambula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com