OLUKIIKO lwe kibiina kya NRM olw’okuntikko (CEC) lwe lulindiriddwa okusalawo ku ani agenda okubeera omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu mu Palimenti eye 11.
Ku ntandikwa ya wiiki eno abakulu abatuula ku lukiiko luno baayitibwa Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu maakaage e Ntebe n e babaako bye boogeramu ebyali ebyekyaama ennyo, kyokka ensonda ne zitegeeza nti mu bimu ku bye bayogerako mwalimu ensonga ya Sipiika.
Kyategerekeka nti Museveni yategeeza abaagala okuvuganya ku kifo kino bonna basooke bakomye okunoonya akalulu saako n’okweyogerera ebisongovu, wabula essira basooke kuliteeka ku butya NRM bwegenda kusigaza kifo kino.
Bino byonna okubaawo kyaddirira embilanye eyamaanyi wakati wa Sipiika aliko kati Rebecca Alitwala Kadaga saako n’omumyukawe Jacob Oulanya okutandikira mu ggiya eyamaanyi okuwenja akalulu saako n’okweyogrerera ebigambo ebisongovu abakulu mu kibiina kye bagamba nti ssi kilungi.
Embeera eno ezingiddemu n’abagala obumyuka bwa Sipiika kubanga nabo beyongedde okuba abangi nga kyetagisa ekibiina okusooka okusalawo ku ani gwe kinawandako eddusu.
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku bye mpuliziganya n’okulungamya e Ggwanga Peter Ogwang yatangazizza ku mbeera eno eno era nalaga nti tewali muntu yenna mu kibiina alina buyinza kusalawo ku ani agenda okubeera omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga okujjako olukiiko olw’okuntikko CEC.
Ogwanga agamba nti tewali nsonga yonna elina kuteeka bavuganya ku kifo kino ku bunkenke kubanga ekibiina tekinasalawo ku ani alina okutwala ebifo bino byombiriri.
“Tubasaba mwenna abaagala ebifo bino okusooka muwe ekibiina ekitiibwa era mulina okukkiriza ebinaaba bisaliddwawo ekibiina okusobola okutambuza obulungi Gavumenti” Ogwang bwe yagambye bwe yabadde asisinkanye bannamawulire.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com