Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga asekeredde abantu bonna abefunyiridde okumuperereza mbu aleke ekifo kyalimu added ku ky’obumyuka bwomukulembeze we Ggwanga, bagamba nti takyagala bakiwe omuntu omulala.
“Nze njagala bwa Sipiika SSI bwa Vice Pulezidenti,saagala kubeera wansi wa bantu, wano mu Palimenti nze ow’okuntikko asalawo ku nsonga saagala kunsalirawo, ekifo ekyo bakiwe abalala nze Ndobye” Kadaga bwe yagambye mu lulimi olusoga.
Okwogera bino yabadde asisinkanye ababaka be kitundu mwava ekya Busoga bonna ku Hotel Africana, era bonna awatali kwesalamu aba NRM nab’oludda oluvuganya be basalawo okumuwagira addemu afuuke Sipiika emyaka 5 emilala.
Ababaka obwedda bakira bawera nti bakufiira ku Kadaga yadde nga waliwo ababaperereza okuwagira omumyukawe Jacob Oulanya ku kifo kino, be bagamba nti balaba akyasobolera ddala okutwala mu maaso obuvunanyizibwa bwokukubiriza olukiiko.
Omubaka Asuman Basalirwa yamubuuzizza ku bikwatagana ku nsonga yokuyungula abajaasi abaakuba ababaka mu kiseera Kya togikwatako elabika nga eke dezezaamu ku buwagizi bwe, nayanukula nti ye takulira bitongole bya byakwerinda, bagamba nti ebyo byetaaga kubuuza abakulira abaselikale okuli ba Minisita be kikwatayo.
Ku nkolagana ye n’omukulembeze we Ggwanga Kadaga yagambye nti nnungi nnyo nti era boogera bulungi nasekerera abalowooza nti Museveni amulwanyisa kyeyagambye nti tekisoboka.
Kadaga olw’okaano lw’obwaSipiika yaluddamu okuva bwe yawangula ekifo ky’omubaka omukyala owe Kamuli, era nga ali nnyo ku mbilanye n’omumyukawe Jacob Oulanya naye ekifo alabika nga akyagalira ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com