OMUMYUKA wa Ssentebe wa NRM Al-Hajj Moses Kigongo avuddeyo nayingira mu nkayana eziriwo wakati wa bakulu 2 ku lukiiko lw’okuntikko olufuga ekibiina okuli Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa saako n’omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga Rebecca Alitwala Kadaga.
Kigongo era nga yoomu ku batuula ku lukiiko lwe kibiina olukwasisa empisa agamba nti tebayinza kutuula butuuzi nga banaabwe bagenda mu maaso n’okwelumaluma mu lujjudde ekintu ekiswaza ekibiina.
“Ekibiina kyaffe kikkiririza mu kukkaanya bwe waba nga waliwo ensonga yonna, era Ssemateeka waffe mu katundu 4 akugira omukulembeze yenna mu kibiina okukozesa emikutu emukyamu okwogera ku nsonga ze kibiina nga kwotadde ne ba memba banne” Kigongo bwe Yagambye mu kiwandiiko kye yafulumizza.
Yabawadde amagezi 2 bano bagira balinda okusalawo kw’olukiiko lwe kibiina olw’awaggulu CEC ku nsonga y’obwa Sipiika sso ssi kwambalaganira mu bantu ne ku mikutu gya mawulire nga bwe babadde bakola.
Ensonga eno yatandikira mu Palimenti ku ntandikwa ya wiiki eno Hon. Ruth Nankairwa bwe yavaayo natanula okuwereza ababaka obubaka obubajjukiza okusalawo okwatuukibwako CEC mu mwaka gwa 2016 Abakulu bwe baasalawo nti Jacob Olanya alekere Kadaga ekisanja ekyo nga yali wakujja mu 2021 era ekibiina kimuwagire.
Bino tebyasanyusa Kadaga saako n’abamu ku babaka abamuwagira okudda ku kifo ekyo, era bonna ne bavaayo ne bambalira Nankabirwa okulwanyisa Sipiika.
Olukiiko lwe Ggwanga olukulu lugenda kulonda Sipiika omuggya mu lutuula olugenda okusookera ddala nga bamaze okulayira, era nga lugenda kukubirizibwa Ssabalamuzi.
Abantu ab’enjawulo bavuddeyo okweyagaliza ekifo kino omuli omubaka wa Kira Munisipalite Ibrahim Semujju Nganda owa FDC, Jacob Oulanya nga ye mumyuka wa Sipiika ne Sipiika aliko Rebecca Kadaga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com