AKULIRA ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akunze abawagizi be okweyiwa ku nguudo okuwakanya kyayise okubba obululu okwakolebwa akakiiko k’ebyokolonda ne balangirira Pulezidenti Museveni nga omuwanguzi.
Abagambye bekalakase okw’etoloola e Ggwanga lyonna mu mirembe, n’asaba abakuumaddembe obutatuusa bulabe ku muntu yenna kubanga okwekalakasa ddembe lyabwe elibawebwa ssemateeka.
“Tulina okuwakanya obubbi bwakalulu kaffe. Wadde mu kkooti twajjayo omusango n’etuguzza mu mmwe abantu,era tulina obujulizi nti Gen. Museveni twamuwangulira waggulu wadde ye yalangirirwa nga omuwanguzi,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Okwogera bino abadde mu lukiiko lw’Abannamawulire nagamba nti okubba akalulu kwatandikira ku bikolwa omwaali okukwata bakakuyege be, okugyako yintaneeti, n’okukola effujjo elyabuli ngeri omwaali n’okutta abantu.
Yalalise gavumenti okuyimbula abawagize be bonna n’okukomya okubakwata, nagamba nti okwekalakasa kwalangiridde tekugenda kubaamu ffuujo lyonna.
Kyokka ab’ebyokwerinda bamulabudde nti kanagezaako okwekalakasa n’abantu be nga tebalina lukusa kanamujutuuka.
Kyagulanyi bakira ayogera eri abamawulire b’eyatuzizza e Kamwokya ku kitebe kye kibiina kye, nga ennyonyi z’amaggye zekaliisizza mu bbanga okuyita waggulu w’ofiisi za NUP so ng’ate mu kibuga n’awalala eby’okwerinda bibadde binywevu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com