SSENTEBE wa kakiiko ke by’okulonda mu NRM Dr. Tanga Odoi azeemu okukukkulumira Ssabawandiisi we kibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba nga agamba nti ono ne banne ku kitebe kye kibiina e Kyadondo basusse okumulemesa emirimu gye.
Kalunsambulira asinga kuva ku nsimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 ezaali ez’okusasula abakulira okulonda ku ma Disitulikiti gonna n’abamyuka baabwe mu Ggwanga zagamba nti n’okutuuka kati tebazifunanga.
“Abaana baakola emirimu gy’okulondesa mu kibiina gyonna era okulonda ne kuggwa bulungi wakati w’omwezi gw’omukaaga ne December, naye n’okutuusa kati tebasasulwanga kyokka nga byonna twabikola ne tubikwasa Mukyala Lumumba ne banne e Kyadondo” Tanga Odoi bwagamba.
Ono yasazeewo okuwandiikira Ssentebe we kibiina yenyini Pulezidenti Museveni era nga ebbaluwa yatereddwako emikono gy’abamyuka be okuli, Jane Babiiha Alisemera ne John Arimpa Kigyagi nga 23/02/202 yemulugunyizza ku nkola Lumumba ne banne gye batambuzaamu emirimu munda mu kibiina.
Eno yaweredwako n’omumyuaka wa Ssentebe we Kibiina Haji Moses Kigongo,abamyuka ba Ssentebe bonna, Kasule Lumumba Ssabawandiisi n’abakulu abalala mu kibiina e Kyadondo.
Odoi yasabye Museveni okuyingira mu nsonga eno nga ekiwundu tekinasamba ddagala, nti kubanga buli kusaba kwateeka mu offiisi z’abakulu kuziimulwa, nagamba nti kino kivuddeko abamu ku bakulu mu kaiiko ke by’okulonda ak’ekibiina okukwata ku nsimbi zaabwe nga abantu okutambuza emirimu gy’ekibiina egirina okusasulirwa, nga bakikola okwewala okuleetawo akavuyo ku offiisi e Kyadondo.
Yagambye nti ensimbi ezirina okutambuza emirimu gya kakiiko ke by’okulonda mu kibiina tebazifunangako nga kati guweze omwaka mulamba, kyagamba nti kibanyigiriza nnyo nga abantu saako ne banaabwe be bakola nabo.
“Mu mbeera eno tutuuka n’okwesasulira amasanyalaze, amazzi, okulongoosa offiisi, ne bilala songa bino byonna birina kusasulirwa kibiina abakulu kye batakola” Odoi bwanyonyola mu bbaluwa.
Ensonga endala era eyolekedde okubatabula ye y’emmotoka z’abakulu ba kakiiko ke by’okulonda, nga balumiriza banaabwe ku kitebe okugaana okusaba kwabwe omwali okubayambako n’okuziddabiriza nti kubanga zaakola nnyo mu kiseera ky’okulonda nga kwotadde amafuta agatabawebwa ne Insuwa.
Era yategezezza omukulembeze we Ggwanga nti waliwo n’abakozi ba kakiiko okuli Francis Tumukunde akola kukunonyereza, Didas Kitakule omumyukawe saako Joel Obonyo nga bano bajjibwa ku lukalala lwa bakozi abasasulwa mu ngeri etategerekeka.
Omwogezi we kitebe kya NRM Emmanuel Dombo bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yanenyezza Tanga Odoi olw’okwaguyiriza okuddukira eri Pulezidenti nga tasoose kuyita mu makubo amalambulukufu gaalina okuyitamu okuggusa ensonga ye, namuwa amagezi asooke atuule n’abakulu mu kibiina.
Ku nsonga y’okujja abakozi ku lukalala olusasulibwa mu butali bulambulukufu Dombo yagambye nti ensonga eno yabadde tagimanyiiko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com