Bya JEFF KAWEESA
GAVUMENTI ekakasizza nga bwetandise etekateeka z’okuyimbula buli muvubuka ey’akwatibwa mu mbeera y’okwekalakaasa olw’obusungu bwe balina eri Gavumenti ya NRM wabula nga bano bakusooka okubangulwa n’okuwa obweyamo nti sibakuddamu kwenyigira mubikolwa bino.
Ensonga zino zayajuddwa mu lukungaana abakungu okuva mu maka g’omukulembeze w’egwanga abakulembeddwamu omuwabuzi wa pulezidenti Alice Kaboyo mwe basisinkanidde abantu abegattira mukibiina ky’ebatuuma “Team banyiivu” nga bano be baali bataggwa kwekalakaasa wabula nga kati basazeewo okukyuuka bakolere wamu ne Gavumenti.
Wiiki eno abakulira ebibiina mu mukago ogugatta ebibiina by’obufuzi IPOD basisinkana e Kololo okuteema empenda butya we bayinza okutwala e Ggwanga mumasso ,era wano omukulembezze we Ggwanga Yoweri kaguta Museveni we yasinzira n’ategezza nga wagenda okwogera nebitongole ebimukuma ddembe okusobola okuyimbula abo bonna abakwatibwa mukiseera kya kalulu akawedde.
Ku sande abakungu okuva mu maka g’omukulembeze w’egwanga abakulembeddwamu omuwabuzi wa president Alice Kaboyo basisinkanidde abantu abegatira mukibiina kyebatuuma “Team banyiivu” nga bano bebaali bataggwa kwekalakaasa wabula nga kati basazeewo okukyuuka.
Bwe yabadde ayogerako ne bannakibinna kya “Team banyiivu, ” Enock Kabalega omu ku kibinja ekyavudde mu maka g’omukulembeze we Ggwanga, yagambye nti abavubuka bangi balimbiddwa abantu naddala bannabyabufuzi ab’egwanyiza ebyabwe nga beyambisa ensobi n’obunafu bwa Gavumenti, nagamba nti kati ke kadde okutereeza ebyasoba.
Alice Kaboyo yakuutidde abavubuka okunyikira okukola Gavumenti esobole okubakwasizaako okusinga okumalira obudde mu kuttatana ekifananyi kye Ggwanga nga beyambisa emitimbagano.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com