ABAVUBUKA envumuulo bangi baasobodde okuyita mu kalulu akaali ak’okufa n’okuwona nga mu kiseera kino babaka abalonde.
Tukuletedde musaayi muto Helen Nakimuli 34, nga kati ye Mubaka Omukyala omulonde owa Disitulikiti ye Kalangala ku bizinga ku kaadi ya National Unity Platform NUP.
Ekifo kino mu kiseera kino kilimu munnaNRM Aida Nabayiga, era nga bwe bunatuukira omwezi gw’okutaano Nakimuli ajja kuba amaze okulayira naye atandike emirimu mu butongole.
Nakimuli gwe twayogeddeko naye mu mboozi eyakafubo agamba bwati ku bimukwatako;
Nazaalibwa nga 2/07/1985 ku kyalo Lukuba/ Buwanga, ekisangibwa mu muluka gwe Buwanga, mu Gombolola ye Kyamuswa e Kalangala. Kitange ye yali omwami we Ssaza lya Ssabasajja Kabaka ely’eSsese eyawummula KWEBA Rev. Father Christopher Walusimbi, Maama wange ye Mukyala Maria Nalwanga Walusimbi nga ono ye yali kkansala akiikirira Kyamuswa ne Bubeke ku Disitulikiti e Kalangala okumala ebisanja 4.
okusoma kwange nakutandikira mu Bukasa Pulayimale gye nava ne ngenda mu Hormisdallen Boarding primary school elisangibwa e Bweyogerere mu Wakiso, eno gye natuulira eky’omusavu.
Neeyongerayo mu ssomero lya Our Lady of Good Counsel SSS Gayaza gye natandikira siniya esooka okutuuka mu y’okuna, oluvanyuma neeyongerayo mu ssomero lya St. Augustine SS Wakiso gye natuulira ekibiina ky’omukaaga, era eno nakola bulungi era nga mu kiseera ekyo nze nali nkulira abayizi abawala ( Head Girl)
Wano neeyongerayo mu Ttendekero ekkulu e Makerere gye nakugukira mu ssomo lye mbeera z’abantu, era bwe navaayo ne nsaba omulimu ku Disitulikiti e Kalangala abakulu ne bandabamu obusobozi ne nfuulibwa omusituzi we mbeera z’abantu mu Gombolola ye Bubeke gye banzija ne bantwala mu gombolola ye Bufumira nga we nawummulidde egya Gavumenti mbadde nkolera mu gombolola ye Mazinga.
Wakati nga nkola emirimu gya Gavumenti nasobola okuyamba abantu bangi mu Kalangala omuli abavubuka, abakyala n’abakadde okubaako kye beekolera ekivaamu ejjamba ne basobola okuva mu bwavu era ekyo kyanyamba nnyo wakati mu kunoonya akalulu kubanga buli gye nagendanga abantu baali bammanyi.
Mu kiseera kino yonna gye nkoleddeko abantu baayo bakkiriza nti ddala Nakimuli mukozi, kubanga nfubye okulaba nga noonyereza ebintu eby’enjawulo ebisibye abantu baffe ab’eKalangala mu bwavu ne mbikolako, nga mpita mu kubakubiriza ne batondawo ebibiina ebibagatta okusobola okubaako emirimu gye batandikawo okusobola okw’ekulakulanya.
Nagezezaako nnyo okuyamba ba Namwandu ne bamulekwa okusobola okufuna ba namateeka ababayambako mu mbeera gye bayitamu, kubanga mu Kalangala bangi ku bantu bano balekebwawo nga tebalina mwasirizi oluvanyuma lwa basajja baabwe okufa ne kiwa omwagaanya bannakigwanyizi okubatwalako ebyabwe nga tewali ayamba, ekyo mbadde neeyambisa nnyo offiisi yange okukilwanako.
Abakadde nfubye okubayambako okufuna bye beetaaga saako n’abalema bonna mbakolamu omulimu era ebizibu byabwe, kye ndowooza bwe naatuuka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu eddoboozi lyabwe lijja kuwulirwa.
Eby’emizannyo nabyo mbikutteko era nga nfubye okutumbula ebitone bya bavubuka ku bizinga bye Ssese era nga nalondebwa okukola ku nsonga z’okukungaanya ensimbi ku ttiimu ye Ssaza lye Ssese saako n’obuwagizi bwa ttimu eyo.
Ekimu ku byasinga okuntanula okwesimbawo mu kifo kino, kwe kuba nti abantu baffe mu bizinga balekeddwa nnyo emabega, mu bye nkulakulana ate nga ffe abaana enzaalwa ate abakozeeko ne Gavumenti weetuli, kye ndowooza nti abantu ke bampadde obuvunanyizibwa nja kukola ekisoboka.
Neeyama nti nja kusakira abantu bange abe Kalangala saako n’okubateseza kubanga obukugu bwonna mbulina” nakimuli bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com