OMUDUUMIZI wa maggye ge Ggwanga Gen. David Muhoozi avuddeyo ne yetondera bannamawulire abaakubiddwa emiggo abaselikale ba Militale ku lw’okusatu bwe baabadde bagenze okusaka amawulire nga omukulembeze we kibiina kya NUP Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu atwala ekiwandiiko ku kitebe kya mawanga amagatte e Kololo.
Muhoozi asinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwayise ku kitebe kya maggye e Mbuya mwasinzidde ne yeetonda olwa basajja be okukkira bannamawulire ne babakuba awatali musango.
“Ebikolwa ebyo nga ffe mu maggye tetukkiriziganya nabyo era buli musilikale waffe eyakoze ekyo tugenda kumukwatako nga omuntu avunanibwe.
Era tutandise n’okunonyereza ku byonna ebyabaddewo olunaku lw’okusatu nga buli eyakyetabyemu wakuvunanibwa kubanga amaggye galin a okuba ne mpisa, Kale twongera okubetondera” Muhoozi bwagambye.
Ono era asuubizza okuvaayo ne ntekateeka okulaba nga buli munnamawulire eyakoseddwa ajjanjabwa saako n’okusasula ensimbi zonna ezinaaba zikozeseddwa.
Bannamawulire abakoseddwa olunaku lwe ggulo kwabaddeko John Cliff Wamala owa NTV, Ireen Abalo owa Daily Monitor, Rashida Nakayi owa Galaxy FM, Josephine Namakumbi owa NBS nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com