AKULIRA Kooti ya maggye Gen Andrew Gutti avuddeyo nawandiikira mukamaawe Gen. David Muhoozi nga amusaba omuwe okulambululwa ku nsonga ze kisonyiwo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kye yasuubiza okuwa Gen Edward Kale Kayihura bwe yali asisinkanye abakulembeze be Kisoro.
Mu bbaluwa gye yawandiika nga 2 omwezi guno Gutti yategeeza omudumizi wa maggye nti aliko ekibinja kya bavubuka okuva e Kisoro abamutuukiridde nga baagala okumanya ekisuubizo kya Pulezidenti era nga ye muduumizi wa maggye ow’okuntikko we kituuse, kubanga yali abasuubizza okusooka okwebuuza ku kitongole kya mateeka mu maggye.
Kinajjukirwa nti Museveni bwe yali anoonya akalulu mu bitundu bye Kisoro abakulembeze bonna awatali kwesalamu baamutegeeza nti obuzibu bwonna bwe baali basinze okusanga kwe kuba nti omwana wabwe Kayihura yali yatekebwako emisanga nga tasobola kudda ku kitundu kwegazaanya nakukumakuma bantu ba mukitundu kye basobole okulonda NRM.
Bagenda mu maaso ne bamunyonyola nti Kayihura yali mpagi ya maanyi mu kitundu kyabwe era nga akola omulimu munene okukunga obuwagizi bwa Pulezidenti ne kibiina kya NRM okutwalira awamu kale nga bangi kubo baali basanze obuzibu okunoonya akalulu nga omwana wabwe taliiwo.
Bwe batyo baamwegayirira addiremu Kayihura amusonyiwe olwe mirimu gye yakolera NRM okusigala nga yamaanyi mu Ggwanga.
Museveni mu kwanukula yabategeeza nti yali talina ttabu nakusonyiwa Kayihura naddala nga yesigama ku nsonga ze baali bamunyonyodde, era naasubiza okukwatagana ne kitongole kya mateeka eky’amaggye balabe eky’okukola ku nsonga eno.
Kayihura nga ye yali Ssabaduumizi wa Poliisi ye Ggwanga okumala emyaka 10 yaggulwako emisango omuli okukozesa obubi offiisi ye, okuwamba abantu, okukwata n’okuzzayo bannansi ba Rwanda mu bumenyi bwa mateeka ekikonta namateega ge nsi yonna ne milala.
Ono avunanibwa ne banne abalala okuli eyali akulira okunoonyereza ku bumenyi bwa mateeka mu kitongole kya Poliisi Col. Ndahura Atwooki, Herbert Muhangi eyali akulira okulwanyisa obunyazi bwe Mmundu, Eyali akulira ebikwekweto Nixon Agasirwe nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com