MINISITA we by’obulimi n’obulunzi Vincent Bamulangaki Ssempijja avudde mu mbeera n’alangira banne mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM e Kalungu nti be baavuddeko okugwa kwe mu kulonda okuwedde.
Ono agamba nti entalo eziri munda mu kibiina ze zimu ku byaviiridde ne banne abalala mu kibiina okuggwa nti singa tebetereeza kyandyongera okuba obubi.
Okwogera bino Sempijja yabadde mu Magezi Cell e Lukaya mu Kalungu mu lukungaana lwe yayise okwogerako n’abawagizi be saako n’ababadde bakulembera okumunoonyeza akalulu.
Yalaze okutya olw’engeri bannakibiina kino gye baabadde bakukuta n’abeebibiina ebirala ebivuganya Gavumenti nti basobole okusuula abanene abali mu buweereza bo bwe beegwanyiza ekintu kye yagambye nti kyandisaanyawo ekibiina mu bbanga ttono singa tekinogerwa ddagala.
Yanyonyodde nti ye okutuuka waali abadde akola nnyo okulaba nga asitula ekitundu mwava ne Ggwanga okutwalira awamu sso ssi nkwe n’abutagaliza nga bwalabye banne bye baakozesezza okumusuula ne kigendererwa eky’okutwala ebitiibwa byabaddemu.
Abantu ba Kalungu East yabasabye basigale nga bagumu nti wadde waliwo ebigambo by’ayise ebitalina mitwe na magulu by’agambye nti tebigenda kumugya ku mulamwa gwa kubakwasizaako mu kwekulaakulanya.
Ssempijja y’omu ku ba Minisita ba Gavumenti abaasuuliddwa mu kalulu akaakaggwa nga Francis Katabaazi owa NUP ye yalangiriddwa ku ky’omubaka wa Kalungu East ku njawulo ya bululu 1,333 okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com