BANNAMUKONO baalonze Omusumba Peter Bakaluba Mukasa ku kifo ky’obwa Ssentebe bwa Disitulikiti eno, mu kulonda okwabadde okwa kassameeme wabula n’awangulira waggulu nnyo ku kaadi ye ki biina kya NUP.
Ono yabadde nnyo ku mbiranye ne munnaNRM Haji Haruna Semakula eyabadde akutte bendera ye kibiina ekiri mu buyinza, kyokka abantu ne basalawo Bakaluba.
Bakaluba akyali muwereza mu kkanisa era nga gye buvuddeko kyategerekeka nti yali agenda kuwebwa obwa Ssabadiikoni bwe Ngogwe mu Kyaggwe kyokka nasaba omulanbirizi we Mukono James Williams Sebaggala asooke amuleke amale okuwereza abantu mu by’obufuzi ebye Nsi.
Gye buvuddeko Bakaluba yali munnaNRM lukulwe era yaliko ne mu bifo by’obukulembeze ku kaadi ye kibiina kino okugeza yakulemberako mu ssaza lye Mukono North saako ne Mukono south ekisanja kimu.
Kati watuukidde ku buwanguzi omulundi guno ku bwa Ssentebe asanze Mukono elina ebizibu mwekyatubidde abatunuulizi bye bagamba nti alina okwesiba bbiri okubyanganga.
Ekisooka kwe kumaliriza ekizimbe kya Disitulikiti ekimaze emyaka 25 nga tekiggwa, kino buli mukulembeze abadde ajja e Mukono kwabadde azimbira eby’obufuzi bye bwe nga kyokka bwe batuuka mu ntebe kibalemerera, kati ne Bakaluba era yeemu ku nsonga gyabadde akulembeza ekilowozebwa nti bwalemwa okukimaliriza naye kijja kumufuukira ekizibu.
Ettaka Disitulikiti ye Mukono yali etudde ku ttaka lya yiika eziwerera ddala 49 nga bwe lyasalwa abafuzi ba matwale nga lino kwe kwali ekitebe kye Ggombolola ya Ssabasajja Mituba iv, ettaka lino kigambibwa nti buli mukulembeze abadde mu mitambo gya Mukono alisazesaze obulere ne litundibwa nga kati lyasigalako kawugiro, ekitebe tekikyaweza yiika 3.
Wano kitegeeza nti okulizza alina okulwanagana n’abagagga abaaligula okulaba nga alibasuuza ekitali kyangu kubanga bangi baalifunako dda obwannanyini obwenkomeredde.
Ettaka eddala lye lya Gavumenti nga ne limu kuliko abantu ba bulijjo abalituddeko saako n’okukolerako emirimu mwe bajja ejjamba, mu magombolola omuli Mpunge, Mpatta, Nakisunga saako ne Koome eno nayo abagagga baalitwala dda nga bakozesa obukiiko bwe ttaka obwa magombolola saako n’abakulu ku kitebe kye bye ttaka e Mukono, kati alina okulaba nga alwanirira abatuuze obutagobwa ku ttaka kubanga bwe kimulema nabwo bugenda kuba buzibu bwerere.
Abakozi ba Gavumenti Mukono mu kiseera kino terina abamu ku bakozi ba Gavumenti abenkizo mu Disitulikiti okuli akulira eby’enjigiriza, mu kiseera kino eyali asunsuddwa okutwala ekifo kino Godfrey Sserwanja yalemesebwa olw’ebyobufuzi ne nguzi eyamusabibwa ababadde mu buyinza bwatyo naddayo e Hoima wadde nga yalina ebisanyizo byonna, nga kati ekifo kikalu.
Akulira Eby’obulamu omujjuvu Mukono telina okuva eyali atwala offiisi eno Dr. Elly Tumushabe okuwummula nga kati ekifo kyasigala kikalu omwaka mulamba guweze.
Ekifo kino era tekinalangibwa nga akulira abakozi James Nkata buli bw’atuukirirwa ku nsonga eno ategeeza nga Disitulikiti bwetanafuna sente.
Ekifo ky’akulira nakyo eby’amawulire mu Disitulikiti nakyo kikalu nga kino kimaze emyaka egikunukkiriza mu 15 nga temuli muntu nga kino kyasemba kubaamu munnamawulire Charles Musisi era bwe yakita okuva olwo Disitulikiti telina muyite Information Officer.
Ekifo kino kyankizo nnyo kubanga Sentebe aba mu buyinza bwatalaga byakoze mu mawulire abantu ne babitegeera amaliriza abatuuze bagamba talina kyakoze nga yeemu ku nsonga ezivuddeko okugwa kwa Andrew Senyonga Sentebe wa Mukono abaddeko.
Entalo wakati wa munisipaari ne Disitulikiti… Bakaluba alina okuba omwegendereza nga agonjoola entalo eziriwo wakati wa Disitulikiti ne Munisipaari ezaasibuka ku ddwaliro eddene Mukono General Hospital ku ani alina okuddukanya eddwaliro lino, eno ebadde emu ku nsonga lwaki abakulembeze ababaddeko balemereddwa era ne bafiirwa obuwagizi nga entabwe yava wano.
Kinajjukirwa nti n’abaswo mu ddwaliro lino gye buvuddeko baateeka ebikola ku ttaka nga bagamba nti omusaala gwabwe gwali guluddeyo oluvanyuma lw’akulira abakozi James Nkata okubalagira nti baalina okusasulwa Disitulikiti kyokka nga Gavumenti ensimbi ekyaziwereza ku Munisipaari.
Bwe yatuukiriddwa ku ssimu Rev. Peter Bakaluba Mukasa yagambye nti ensonga zino zonna abadde aziwulira era nga azimanyiiko akatono, nagamba nti agenda kulaba nga akwatagana ne banne bwe baayiseemu okulaba nga bazuula awabadde emiwaatwa gyonna bagizibikire.
” Nze sigenda kulwana ntalo na muntu yenna, kyengenda okufuba okulaba nti nkolera Mukono bannamukono baddemu bajeyagaliremu kubanga wano we nzaalwa ate ninawo ebyange bingi” Bakaluba bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com