OMUSUMBA Harriet Senfuka owa Dicipleship Church e Mukono e magombe asimbyeyo kitooke oluvanyuma lwe mmotoka mwabadde atambulira okwefuula neegwa bwabadde ava okukola ku Leediyo ya Dunamiz esangibwa mu kibuga kye Mukono.
Akabenje kano kabaddewo ku ssawa 7 ogw’emisana bwabadde adda mu makaage oluvanyuma lw’okukola Pulogulaamu ye eya Beera mu Class gyawereza buli lunaku.
Ono abadde avuga mmotoka ye ekika kya Noah nnamba UAZ 223V nga ayitira mu kkubo eligatta olusozi lwe Beesaniya ku kibuga kye Mukono.
Okusinziira ku akulira emirimu ku leediyo ya Dunamiz Senyonga Buster Richards yategezezza nti baafunye amawulire nti mukozi munaabwe afunye akabenje bwabadde yakava mu kifo wakolera.
“Tugenze okutuuka mu kifo awagudde akabenje tusanze emmotoka egudde ne yeefuula kyokka ekilungi Omusumba takoseddwa nnyo era abantu be bamututte mu ddwaliro afune ku bujjanjabi” Senyonga bwategezezza.
Enguudo ezigatta ekibuga Mukono ku Lusozi lwe beesaniya ennaku zino ziri mu mbeera mbi, era nga abatuuze abasula mu bitundu bino buli kadde beemulugunya.
Akulira eby’enguudo mu kibuga kye Mukono Josia Serunjogi atuuseeko mu kifo awagudde akabenje naasubiza okukolawo mangu ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com