OMUYIMBI Ronald Mayinja, Omutegesi we bivvulu Andrew Mukasa amanyiddwanga Bajjo Events saako ne baanaabwe abasala eddiiro gye buvuddeko ne beegatta ku Pulezidenti Museveni baakiguddeko abavubuka be Buwenge mu Busoga bwe baabatabukidde ku mande ne babalangira okunyaga ensimbi za Musevi gwe basooka okuvuma.
Mayinja ne banne ennaku zino babadde mu bitundu bya Busoga mu kawefube gwe baliko gwe bagamba nti bawenjeza Pulezidenti Museveni kalulu wamu n’okukunga abavubuka beegatte babafunire ensimbi okuva mu Gavumenti beekulakulanye.
Abavubuka baakungiddwa era ne bajja basisinkane abakulu okuva mu kibiina be baalowozezza okusooka nti bagenda kubawa ku nsimbi saako n’okubabuulira ebizibu byabwe. Wabula ekyabajje enviiri ku mutwe kwe kulaba abantu be bazze balaba ku mikutu gya mawulire, abamaze ebbanga nga bavuma Pulezidenti Museveni ate nga be bazze okubabuulira nga bwali omulungi ennyo saako n’okubakunga bamuwe akalulu ensonga zaabwe zikolweko.
Mu kusooka omutegesi we bivvulu Bajjo yajeregeredde abavubuka be yayogeddeko nga abawoggana obuwogganyi mu kifo ky’okubaako bye bakola bejje mu bwavu, nga kino nakyo kyayongedde okubatabula nabo ne bamulangira okubba ensimbi za Museveni kyokka nga tebamwagala.
“Ffe buli kadde tubadde tuwagira Pulezidenti naye teri kye yalia atuwadde naye twewunya omumtu nga ggwe Mayinja eyayimba akayimba kamu ka BIZEEMU ne bakuwa ensimbi buwanana nawe nojja otubuulire enjiri nti tuwe Museveni akalulu gw’otalondagako yiiii ensi eno nzibu.
Mutuleke naffe twekalakaase osanga omukulembeze bwanawulira eddoboozi lyaffe kubanga singa ne Bajjo teyekalakaasa Museveni teyandikoze ku bizibu bye.
Ekizibu kyaffe ekisinga wano kye kye bikajjo amakkampuni gatudondola, tebakyayagala kukima bikajjo byaffe bikalidde ku misiri, tetukyasobola kuwerera baana baffe saako naffe okwerabirira nga abantu, teri atuyamba kyokka mbu mwe Pulezidenti baasindise tubabuulire ebizibu byaffe abatamuwagirangako kitalo!” Abavubuka bwe baalangidde Mayinja ne banne.
Oluvanyuma olukiiko telwawedde bulungi nga abalwetabyemu bonna balwamuse nga tewali nsonga nnungamu gye batuuseeko okujjako okwelangira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com