OMUKULEMBEZE we Ggwanga era nga yakwatidde ekibiina kya NRM bendera mu kulonda okubinda binda Yoweri Kaguta Museveni alaze okwennyamira eri abantu 3 ab’esimbyewo ku bwa Pulezidenti abava e Rukungiri baayogeddeko nti bano tebalina nsonga nzigumivu gye bategeeza bantu nti tebamulonda okujjako okwogera obwogezi.
Ono agamba nti Gen. Mugisha Muntu, Gen Henry Tumukunde ne Col. Dr Kiiza Besigye tebavangayo na nsonga yonna yadde entekateeka yakubaako kye bakolera bannaUganda okujjako okwogeranga nti Museveni aveeko.
Okwogera bino abadde asisinkanye abakulembeze be kibiina kya NRM mu bitundu bye Rukungiri wakati mu kuwenja akalulu kwaliko akagenda okumuzza mu ntebbe ye Ggwanga gyamazeeko emyaka egisoba mu 30.
Abeeno Museveni abasuubizza okubazimbira enguudo ezibadde zikyabatawaanya saako ne Ssetendekero mu kitundu kino nga agamba nti ayagala babeera nabo nga batambulira wamu ne bannaUganda abalala.
Kinajjukirwa nti Gen Mugisha muntu yaliko omuddumizi w’okuntikko owe Ggye lya UPDF, Gen. Henry Tumukunde naye yaliko Ssabakessi we Gwanga nga akulembera ekitongole kya ISO nga kwotadde obwa Minisita we by’okwerinda.
Col Besigye naye yakolerako mu Gavumenti ya NRM nga yali Minisita wa Regional Cooperation nga bano bonna bava Rukungiri.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com