OMULABIRIZI we Mukono Kitaffe mu Katonda James Williams Ssebaggala akunze Abakulisitaayo okukomya embeera y’okubeera mu by’obufuzi buli kadde, nabakuutira okubaako emirimu gye bakola basobole okwejja mu bwavu.
Mu ngeri yeemu era yasabye abavubuka nabo okukomya okulera engalo n’okwetaba mu mbeekuulo z’ebyobufuzi ze yagambye nti tezijja ku bayamba wabula bakole okufananako nga bajja baabwe bwe baali.
Okwogera bino Omulabirizi Ssebaggala yabadde mu Busabadiikoni bwe Ngogwe mu Busumba bwe Kisoga saako ne bwe Namuyenje ku kkanisa ya St Paul esangibwa mu Bussabadiikoni bwe Nassuti mu kaweefube gw’aliko ow’okusisinkana abakulembeze oluvanyuma lw’ekkanisa okugibwa ku mugalo.
Yasoose kuggulawo ekizimbe eky’obusubuzi mu Town Councila ya Ntenjeru Kisoga, saako n’okusimba e Jjinja ku kizimbe kye by’obusuubuzi ekyazimbiddwa omusuubuzi Charles Kyesswa.
Omulabirizi Ssebaggala yagambye nti abantu balina okukola ennyo naddala mu kiseera kino nga egimu ku mirimu gigguddwawo okuva mu muggalo gwa COVID, nagamba nti singa omusuubuzi Kyeswa teyafaayo nadda mu byabufuzi mu kifo ky’okukola yandibadde tabaako kyateekawo ekiyamba ekitundu.
” Mujjukire nti eby’okunoonya akalulu we biggwa abayiseemu bagenda kukola mirimu egibalonzezza, ate abalonzi ne basigala mu bitundu byabwe, kale bwe mutetegeka nga mukola ebibatwala mu maaso mwenenyanga mwekka” Omulabirizi Sebaggala bwe yakuutidde Abakulisitaayo.
Mukyala w’omulabirizi Tezirah Ssebaggala yakubidde omulanga bannaUganda bonna okufaayo okulwanyisa ekilwadde kya Covid saako n’okukitangira kubanga wekiri tekijja kugenda mangu nga n’olwekyo balina okufaayo enyo okugoberera obukwakkulizo obwatekebwawo ab’ebyobulamu omuli okunaaba mu ngalo, okwambala Masik ne bilala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com