PRISCA Oucha omusawo omukyala mu ddwaliro lya Pakwach Health Centre ebigambo bimwononekedde bwayitiddwa abitebye nga entabwe eva ku kulinnya mmotoka yoomu ku beesimbyewo Robert Kyagulanyi Sentamu natandika okuvvunula ebigambo bye yali ayogera mu lungereza.
Kigambibwa nti Kyagulanyi bwe yatuuka e Pakwach mu West Nile mu lukungaana lwe yali akubye mu kisaawe ekiri okumpi ne ddwaliro ku lw’okusatu, yasaba omuntu yenna asobola okumuyambako okuvvunula bye yali ayogera nga abizza mu lulimi abantu bonna lwe baali bategeera Omusawo Oucha ne yesowolayo akole omulimu ogwo nga nakyewa.
Wabula kino kyatabula akulira abakozi Stella Abyeto nga agamba nti Oucha yali yetabye mu by’obufuzi ebyawula yawula mu bantu ate nga mukozi wa Gavumenti.
Abyeto yategezezza nti omusawo ono baamuyise yewozeeko ku nsonga zino mu buwandiike, engeri gye yatandika okwetaba mu byobufuzi nga takkiriziddwa bakama be.
“Tetugenda kukkiriza bakozi baffe kwetaba mu byabufuzi ate nga balina okukolera abantu bonna songa ne misala bafuna gya Gavumenti” Abyeto bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com