OMUKULEMBEZE we kibiina kya Forum For Democratic Change FDC Patrick Oboi Amuriat era nga ono yakikwatidde bendera mu kulonda kw’obwa pulezidenti mu kulonda kuno olweggulo lwa leero asimbiddwa mu kkooti e Mbarara navunanibwa emisango okuli n’okwokugaana okugondera ebiragiro bya bakuuma ddembe.
Kino kiddiridde okukwatibwa ku makya g’olwokutaano mu disitulikiti ye Rubiriizi bwe yabadde agenda okukola kampeyini ze ezinamutuusa ku bukulembeze bwe ggwanga.
Omulamuzi amusomedde emisango gye yazizza era namuyimbula ku kakalu ka kkooti.
Kino kiddiridde olunaku lw’okuna Amuriat eyabadde atambulira ku boda boda no UEX 650D okutomera omuddumizi wa Poliisi mu disitulikiti ye Mbarara SP Rutagira John bwe yabadde agenda mu kisaawe kye Kakyeka awabadde olukungaana.
Oluvanyuma lw’okuteebwa Amuriat agambye nti okumukwata kwabaddemu ekigendererwa ky’okumutaataganya aleme okumaliriza enteekateeka ze eza kkampeyini, nagamba nti tagenda kudda mabega.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com