Gen. Henry Tumukunde omu ku bavuganya ku ntebe y’obukulembeze bwe Ggwanga y’enyamidde elw’ebikolwa eby’efujjo ebigenda byeyongera buli lukya naddala ebyo ebigenda bikolebwa ku akulira ekibiina kya national unity platform Robert Kyagulanyi Sentamu ne banabyabufuzi abalala abali ku ludda oluvuganya.
Tumukunde ayagala abakulira ebitongole ebikuuma ddembe omuli poliisi n’amagye bekkaanye nyo abantu bebakozesa mubitongole bino kubanga mwandiba nga mulimu abantu abakyamu ababyerimbiseemu n’ekigendererwa eky’okutabula e Ggwanga nga beefula abakwasisa amateeka .
Ono alabude nti singa tewabaawo kikolebwa kulondoola bigendererwa bya baserikale abajja bakola ebikolwa bino e Ggwanga lwaliggwa mukatyabaga akayinza okuviirako abantu okuttingana.
Ono aganze mumaaso nanenya akakiiko keby’okulonda ne Gavumenti okutwaliza awamu olw’obutawuliriza kuwabulwa kwabantu sekinoomu , banabyabufuzi, ekibiina ekitaba enzikiriza ekya inter religious council of Uganda kwossa ebibiina by’obwanakyewa eby’alabula nti okulonda kwali kulina okwongezebwayo elw’embeera yekirwadde kya Covid-19 kyokka nga kati bazinze mikono.
Tumukunde aweze okufafagana n’abantu abazze banyaga ettaka ly’abantu mubitundu by’omumambuka ne Ggwanga lyonna okutwaliza awamu senga anaba alondeddwa okukulembera eggwanga lino mukalulu akabindabinda.
Tumukunde agamba nti waliwo banakiggwanyizi abagufudde omugano okugenda nga banyakula ettaka ly’abantu mubitundu by’eGgwanga eby’enjawulo nga beyambiisa wofiisi zabwe sako obunafu mubitongole by’amateeka kyagamba nti ye siwakukigumikiriza bwanaba atute obukulembeze bw’eggwanga.
Tumukunde olunaku lwa leero lw’atandiise okuwenja akalulu mu Lango sub region oluvanyuma lw’okumaliriza okukasagula mubitundu bya Acholi sub region.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com