MUWALA wa Minisita Sam Kahamba Kuteesa Shartsi Musherure Nayebale Kuteesa era nga ono gwe yaleeta avuganye ku kifo Ky’ Omubaka akiikirira ekitundu kya Mawogola North, ebintu byongedde okumwononekera abamu ku bawagizi be bwe bamwabuulidde nga bamulanga ensonga nnyingi omuli n’okubayisaamu amaaso saako n’obutasiima.
Bano abakunukkiriza mu 100 nga babadde beegattira mu kibiina ekimanyiddwanga Goberera Inniciative era nga beebatandikira ddala okumuwagira basazeewo beegatte ku muto wa Pulezidenti amanyiddwanga Sodo Aine Kaguta gwe bavuganya ne Musherure.
Bano bategezza nti ebbanga lyonna babadde bayiwawo omubiri nga enjogera ye nnaku zino bwegamba eri muwala wa Kuteesa, nti kyokka amaanyi gaabwe gonna bagenze okulaba nga gafa busa olwa kye bayise obutasiima bwe.
Banyonyodde nti ono takoma ku bbo bokka nga babadde mu mitambo gy’okunoonya akalulu nti wabula kyeyongerayo ne ku bantu ba bulijjo ekileseewo enjawukana mu nkambi yonna.
Ezimu ku nsonga bano ze beesigamyeko era nga baazisenzese ne baziteeka ne kumikutu emigatta bantu egye Sembabule, baalambise bwe bati;
Ekisooka nti Musherure bagezezzaako ekisoboka okumukolera ebimuwanguza naye tasiima
Okuyisaamu abantu amaaso nayo nsonga nkulu nnyo, naye abamu ne bamusonyiwa kubanga takulidde Mawogola ebbanga eddene abadde Bulaaya.
Okukwata amasimu nayo nsonga bagimulanze, nti ono buli kadde abeera yefuula alina byakola, oluvanyuma nabategeeza nti yerabidde nga kwotadde obutagaba.
Bategezezza nti ono ayisa amaaso mu bannamawulire yadde nga alina omukutu gwe ogwa Leediyo mu Sembabule nga nolumu yagoba abamu ku bakozi nga abalanga obutamuwagira.
Ensonga y’obutassa mu nkola byaba yeyeamye nakyo baakyogeddeko nga kwotadde n’obuteesiga bamunoonyeza kalulu ate nga ekitundu takimanyi.
Ezo zeezimu ku nsonga kwe baasinzidde okumwabuulira.
Kinajjukirwa nti Musherure ne Kaguta bonna bavuganyiza ku bwa Namunigina yadde nga akakiiko ke by’okulonda aka NRM e Sembabule kaali kalangiridde muto wa Pulezidenti Sodo Kaguta, kyokka abakulu e Kampala ne batuula oluvanyuma lwa Musherure okuwaaba ne basalawo nti NRM e Sembabule terinaayo yesimbyewo ku kaadi yaabwe.
Kino kyatabula Sodo Kaguta era naawabira ekibiina kya NRM mu kkooti enkulu nga ayagala omulamuzi asalewo addizibwe obuwanguzi bwe saako ne Kaadi gye yawangula nga ensi yonna elaba.
Mu kawefube w’okwogerako ne Shartis Musherure kugudde butaka olwe ssimu ze ezimanyiddwa okuba nga tazikwata.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com