ABA Famire y’omubaka eyali akiikirira Munisipaari ye Kamuli mu Palimenti Rehema Watongola eyafa gye buvuddeko basazeewo baleete muwala we yaaba addira nnyina mu bigere nga omubaka we kitundu kino.
Kayanga Baroda Watongola omuyizi mu Yunivasitya e kyambogo ye yalondeddwa aba Famire ya Watongola, oluvanyuma lw’okusabibwa abataka mu kitundu kye Kamuli babawe omu ku ba Famire adde mu kifo ky’omubaka waabwe eyabava ku maaso.
Hajji Badru Watongola nga ono ye mwami w’omugenzi yategezezza nti okuva mukyala we lwe yafa abadde afuna abantu ab’enjawulo nga bamusaba abawe omuntu okuva mu Famire ye gwe baba bawagira ku kifo ky’omubaka, nagamba nti abadde tasobola kubatenguwa kwe kusalawo aweeyo muwala waabwe era abalonzi ne bamukkiriza.
Yategezezza nti kati eddimu lyayolekedde kwe kulaba nga ateekateeka omwana ono, saako n’abataka abakwatibwako ensonga eno balabe nga asobolera ddala okudda mu bigere bya nnyina, okusobola okuwereza abantu ba Munisipaari ye Kamuli mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Watongola we yafiira nga yali amaze okwewandiisa okuvuganya ku kifo ku bwa namunigina oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu ke kibiina kya NRM, era nga yali alonze akabonero Ntebe.
Kayanga mu kiseera kino amaze okuwandiikibwa akakiiko k’ebyokulonda mu Disitulikiti ye Kamuli…..
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com