OMUKULEMBEZE we Ggwanga era nga yakwatidde ekibiina kya NRM bendera mu kulonda okubinda binda Yoweri Kaguta Museveni asekeredde akulembera we kibiina kya Forum For Democratic Change FDC Patrick Oboi Amuriat, namujjukiza nti abantu be Teso tebagenda kumulonda kubanga tebalonda mawanga na bwakabaka.
Museveni okusomooza Amuriat bwati yabadde ku Booma Grounds e Kumi nga awenja akalulu akanamutuusa ku buwanguzi omulundi ogw’omukaaga, nga wano we yasinzidde nategeeza abaTeeso nti NRM ekoze ebintu bingi nga n’olwekyo tebalina kubyerabira, wabula balina kujongera buwagizi ekole ne bikyabulayo.
Yategezezza nti abadde awulira amaloboozi nti omu ku beesimbyewo era nga mwana nzaalwa ye Teeso Patrick Oboi Amuriat agenda abasigamu ensigo y’obukyayi nti balina kulonda Muteeso munaabwe, nagamba nti oyo wolokoso tebalina kumuwuliriza kubanga akalulu ke banoonya ka mukulembeze wa Ggwanga ssi Bwakabaka.
“Enkola y’okusosola mu mawanga mu Uganda yakoma dda era bannaUganda bamanyi kye baagala, ebyo Amuriat byagamba temubigenderako kubanga tebirina gye bitwala Ggwanga lino” Museveni bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti emyaka gyamaze ku ntebbe ye Ggwanga abadde akolagana bulungi n’abantu be Teeso, era ye nsonga lwaki yaleka abantu nga Amuriat okukulembera abaayo emyaka 15 gye yamala mu Palimenti nga ayogera teri amukuba ku mukono, nabasaba bamuwe akalulu era addemu abakulembere asobole okumaliriza ebizibu ebitannaggwa saako nebyo byabadde yakakolako.
Mu kusooka omukiise ku lukiiko olukulembera ekibiina kya NRM olw’okuntikko Cpt. Mike Mukule yalaze Pulezidenti nti ekitundu kye Teeso kimwagala nnyo era beetegefu okumuyiira akalulu mu kulonda kuno addemu akulembere Uganda nga teri amutaataganyizza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com