Gen. Henry Tumukunde omu ku bavuganya ku ntebbe y’obukulembeze bwe Ggwanga agumizza bannaUganda nti alina obusoboozi obumala omukulembeze eGgwanga lino era n’abasaba okumwesiga.
Tumukunde agamba nti aze awulira amaloboozi agatali gamu nga abantu babusabuusa oba nga ddala alina obukugu n’obumanyirivu okutwala e Ggwanga Uganda maaso, nategezeza nti ku bbanga ly’amaze ng’awereza mu bifo ebitali bimu mu gavumenti talina kiyinza kumulemesa kukulembera Ggwanga.
Ayongeddeko nti pulezidenti Museveni yajja mu buyinza nga Alina emyaka 38 ate nga ye kati alina emyaka 61 gy’agamba nti myaka mituufu nyo omuntu okutwala obukulembeze, kubanga aba alabye ebintu bingi.
Tumukunde okwogera bino yabadde amaliriza okunonya akalulu by’Ankole nagamba nti newankubadde nga asobodde okutuuka muzi district ezitali zimu , naye obudde bwe babawa butono nnyo tebasobola kunnyonyola bulungi bantu baabwe bye bagenda kubakolera nga babalonze kubanga ne nguudo zenyini mwe bayita mbi nnyo ekibaletera okukerewa mu bifo ebimu oluusi n’obutatukirayo Ddala.
Tumukunde atemyetemye ebimu kwebyo byagenda okukoleera banaUganda bwe banaaba bamutaddemu obw’esige ne bamulonda nga muno mulimu okutumbula ebyobulimi n’obulunzi, eby’obulamu ne byenjigiriza saako okukola enguudo nadala mu bitundu eby’ensozi abantu baleme okukalubirirwa muntambula, saako n’okutambuza ebyamaguzi byabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com