WABADDEWO akasattiro mu ddwaliro ekkulu e Mukono ku lw’okuna, abasawo bwe baasazeewo okussa wansi ebikozesebwa ne beediima nga bawakanya abakulira Disitulikiti okulwawo okubasasula emisaala gyabwe saako ne bikozesebwa mu kujjanjaba ekilwadde kya Covid 19 okubaggwako nga batya nti kino kyandibaleetera nabo okukwatibwa covid olw’omuwendo gwa balwadde okweyongera.
Kinajjukirwa nti okuva eddwaliro lino bwe ly’asumusibwa okutuusibwa ku mutendera gwa HOSIPITAL abakulembeze ba Disitulikiti ye Mukono okuli Sentebe Andrew Senyonga, akulira abakozi James Nkata saako n’omubaka wa Gavumenti e Mukono Fred Bamwine baatandika okusika omuguwa nga baagala bakyuse obukulembeze bwalyo babuzze mu mikono gya Disitulikiti nga beesigama mu tteeka elifuga Gavumenti ezebitundu lye bagamba nti liwa Disitulikiti obuyinza okutwala amalwaliro gonna amanene.
Wabula kyazuulibwa nti ate eteeka lye limu era liwa ne Munisipaari obuyinza okuddukanya eddwaliro eddene kasita liba nga lisangiddwa mu kitundu ekyo.
Kino abakulu ba Disitulikiti ye Mukono baakiwakanya era ne bagenda mu maaso ne balagira abasawo bonna okwewandiisa ne Disitulikiti basobole okufunira eyo emisaala gyabwe, ekintu ekyabazitoweredde kubanga ensimbi ez’omusaala gwa basawo tebazirina.
Kino kye kivuddeko obuzibu abasawo abasoba mu 60 okulwawo okufuna omusaala, wabula tukitegeddeko nti akulira abakozi mu disitulikiti ye Mukono James Nkata yeefudde ate nawandiikira abakulira Munisipaari nga abategeeza nga bwatalina nsimbi zisasula basawo era nabasaba bagira babasasula okutuusa mu mwezi gw’omukaaga omwaka gwa 2021, aba munisipaari kye bakyagaanyi.
Abasawo olwalabye banaabwe abaasigala mu munisipaari basasuddwa nabo kwe kusalawo beediime nga bawakanya embeera gye batandise okulaba, songa luli bwe babadde bali wansi Munisipaari babadde bafuna omusaala gwabwe mu budde kye bagamba nti si baakukigumikiriza.
Baategezezza nti ne mbeera gye bakoleramu naddala mu kiseera kino ekye kirwadde kya covid si yamulembe, olw’okubulwa ebikozesebwa eri abalwadde baakyo, kye bagamba nti nabo bayinza okukwatibwa ekilwadde kino singa tewabaawo kikolebwa mangu.
Akulira abakozi mu ddwaliro lino Dr. Geofrey Kasirye yayogedde ne ku mbeera y’obutaba na motooka etambuza abalwadde giyite AMBULENCE kye yayogeddeko nga omuziziko gye bali mu kiseera kino nga yeetagibwa mu kutambuza abalwadde ba covid 19.
Oluvanyuma lwa kediimo Dr Kasirye yeegayiridde banne okudda ku mirimu nabasuubiza okukwasaganya ensonga n’abakulu okulaba nga emisaala gyabwe gisasulwa mu bwangu ddala.
Eddwaliro lino lyasabwa omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu mwaka gwa 2014 abakulembeze abaaliwo mu kiseera ekyo okwali Meeya Johnson Muyanja Ssenyonga nabalala, era okusaba kwabwe ne kuddibwamu mu mwaka gwa 2019 ne lisuumusibwa.
Bwe yali akyaddeko mu ddwaliro lino gye buvuddeko Minisita we by’obulamu Jane Ruth Acheng yategeeza abakulembeze ba Disitulikiti ne Munisipaari okukomya okusika omuguwa mu by’obujjanjabi nabasaba bateese butya bwe bayinza okukolaganira awamu okusobola okutumbula eby’obulamu mu Mukono.
Yabategeeza nti bonna balina obuvunanyizibwa okuddukanaya eddwaliro lino, era nabalabula obutayingiza byabufuzi mu byabulamu wabula balabe butya Gavumenti bweyinza okubayambako okusuumusa amalwaliro amalala mu Mukono.
Abakulembeze be kibuga kye Mukono bwe baabadde mu lukiiko ku lw’okusatu bonna awatali kwesalamu baasazeewo obutakkiriza kuwayo ddwaliro lino, era ne bawera nti singa Disitulikiti egenda mu maaso n’okweyingiza mu nzirukanya ye mirimu gye ddwaliro lino bajja kuwalirizibwa okugikuba mu mbuga za mateeka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com