EMirundi mitono nnyo gy’oteekako Sanyuka TV n’otasangako by’amizannyo. Wadde nga ppulogulamu nnyingi nnyo ezirabibwa naddala mu by’emizannyo naye ‘The Bench’ esigala nga yakumwanjo.
Bannabyamizannyo bangi mubiseera eby’egandaalo babadde beekumira waka okusobola okulaba ebifamunsike ye byemizannyo.
Ng’ogyeeko okuba nti omupiira yaguzanyirako mu kkiraabu ya Police FC musizoni ya 2005, Baker Kigongo agamba nti ye yemupiira ate omupiira ye Kigongo. Omupiira kintu kimu ku ebyo Kigongo byaawa obudde.
Ku yafeesi wakolerera NBS TV e kamwokya, Kigongo omuwandiisi wa Wachdog weyamusanze era mu kunyumyamu yazudde nti ebintu bitono nnyo Kigongo byatamanyi mu byemizannyo.
Anonyereza nnyo ate awaayo obudde okumannya ebifa kubazannyi bo mupiira naddala abawanno kubutaka. Musajja munyumya!
Kigongo agamba nti ng’ogyeeko okumulaba ku lutimbe lwa TV nga awereza ebyemizannyo, omupiira naye yaguzannya ne gunoga, agamba ompiira yagutandika akwatira Masaka S.S mubiseera Meddy Sserwadda weyamuzurira.
Wabula olugendo lwe lwatandikira mu Police FC eyamukansa nga omuteebi kunsimbi akakadde kamu era okuva olwo Kigongo natandika okulya kukitone kye.
Omupiira gwatandika okufuuka ensonga eri obulamu bwe, era abamulaba kati bamwegomba.
Musajja munyirivu atenga mufumbo. Mukyala we ye Maria Nabakooza Kigongo omuzira Nte
Kigongo muzadde era mutabani we Jede Blessing Kisakye naye omupiira ogwagala nga kitaawe.
Kkiraabu nga Express, Kinyara FC nendala zayagala okumukansa wabula Paul Hasule eyali atendeka Express ebiseera ebyo yamuwaliriza okwesoga Police FC.
Tebyali byangu. Byalimu okwerekereza. Okuwuliriza awamu nokusalawo, agamba yamalirira nasalawo okwegatta ku Police FC. Wabula yadde nga ebiroto bye yali amaliridde okubitukiriza nga ayita mu mutendesi Hasule, Kigongo agamba nti okufa kwa Hasule kwamukuba wala nnyo.
Mumwaka gwegumu Police FC yasobola okuwangula ekikopo era nga Asuman Lubowa yabayamba nnyo wadde nga Kigongo agamba nti Lubowa teyamuwa mukisa gumala.
Kaseera mpaawo kaaga, Lubowa yawaliriza Kigongo okwegatta ku Express era awo weyasanga Hassan Mubiru omupiira nebaguzanyira ddala.
Kigongo ateera okukuletera abaguzannyako buli lwa sande ku lutimbe lwa Sanyuka TV agamba nti mu Express yali yetwala nga Ronaldo Luís Nazário de Lima atenga Mubiru ye yali yemanyi nga Luís Filipe Madeira Caeiro Figo.
Kigongo agamba nti okuzannya omupiira yakiraba nti tekijja mukolera nnyo era nasalawo agende ku Kampala University akuguke mumulimo gwa mawulire.
Wano weyalabira ekubo erimukomyaawo mumupiira era mukumaliriza yegatta ku Top Radio mu 2012.
Wabula mukiseera kyekimu Kigongo yegatta ku Masaka Local Council FC era nabazanyira okumala sizoni namba. Awo mu Masaka Local Council FC Kigongo agamba nti yasangawo amannya gabazannyi abali bakoze ebyanagwano nga; Tony Mawejje . Mawejje gyebuvuddeko yegatta ku Police FC.
Mu 2012 Kigongo agamba nti yalaba ekubo eddala mubyobusubuzi era nayolekera Al Nasr, Dubai gyeyamala emyezi ebiri nga apanga obulamu.
Wabula teyayagala kusuula mupiira era mu 2013 Kigongo yegatta ku Beat FM natandika okugusunsula.
Olwokuba Kigongo musajja mukozi nnyo natenga yewaayo yenna bwaaba alina kyagoba, yasobola okukozesa omuzindalo okusobola okwegatta ku NBS TV mu 2014. Wano yegatta kukitongole kyebyemizaanyo ekitwalibwa Web Daniel Ssebakijje.
Kigongo takoma kuwereza buwereza byamizannyo wabula naye abiwagira.
Musajja eyatandika nga awagira SC Villa nga abazannyi okuli; Paul Mukatabala, Moses Ndawula ne Sula Kato mu nnaBuddu bebali nga mukwano gye kuttiimu eno.
Wabula nga bwekiri nti ebirwa byelabirwa, Kigongo yasuulawo Villa ne yeggata ku Express. Abazannyi okuli; Hakim Mulinde, Johnson Bagole ne Jamil Kyambadde bamuwaliriza okuwagira Express FC.
Kigongo yasomera kumasomero Masaka Islamic ne Masaka S.S era musajja mulokole. Kigongo ayagala nnyo essomero lya Masaka S.S. Agamba nti singa sisomero lino amatiimu nga; Bugiri Old Times eyamukansa mu 2004 ku nsimbi emitwaalo assatu tezandirabye kitone kye.
Wosomera bino nga Kigongo aweeza egyobukulu 35, eranga bazadde be; Buyondo Muhamad ne Mary Namisango Kigongo agamba nti bamubereddewo okusobola eggwanga okutuuka okumwenyumirizaamu.
Kigongo eyayitibwaako omutendesi Mike Mutebi muttiimu yabaana abali wansi wemyaaka 12 wabula natasobola kuzannyo nnyo mupiira nomutendesi Mutebi, agamba nti Uganda erimu ebitone bingi.
Annyumya nti asisinkannye abazannyi bomupiira banji atenga era akyasisinkana nabalala banji wabula ekimusomooza kwekusanawo kwabanabitone olwebula lyensimbi mugwanga.
Banji abandiguzannyeko nebanamiriza egwanga begasse mu bizinensi ezenjawulo Kigongo kyagamba nti kireseewo obukubagano mukisaawe kyebyemizaanyo.
Ku Express kwafiira negyebuli kati Fred Tamale yeyajimuwagiza. Tamale yali nakinku mukusanya omupiira eranga Kigongo amugeragerannyako ne Dennis Nicolaas Maria Bergkamp eyali omuteebi kayingo mu kkiraabu ya Arsenal. Bergkamp yatebeera Arsenal goal 201 wansi okuva musizoni ya 1995 okutuuka 2006.
Kigongo agamba nti Bergkamp byeyakola ku Arsenal abigeragerannyako ne Tamale byeyakola nga akyazannya omupiira mu Express. Musizoni ya 1993, Tamale omupiira yali agwefuze era Kigongo agamba nti wano yatebeerawo goal 14.
Kigongo agamba nti Tamale bebamu kubazannyi Uganda berina okuwa ekittibwa kubanga omupiira baguzannye ate nebagwagaza nabalala.
Ng’ogyeeko Express, Kigongo muwagizi nnyo wa Arsenal. Mukiseera kino Arsenal bali wansi womutendesi Mikel Arteta wabula Kigongo yatandikira kumulembe gwa Arsene Wenger mu 1998 okujiwagira. Omuzannyi Nwankwo Kanu yeyamuwaliriza okuwagira ttiimu eno.
Kigongo annyumya nti Kanu yali muzannyi wamanyi. Ate ekyokuba nti mu firika nakyo kyamuwaliriza okumwagala ennyo. Kanu yateebera Arsenal goal 30 mumyaaka ettaano gyemalawo. Kukino Kigongo takirinako buzibu era agamba nti Kanu yalina ekitone nobwagazi bwokuteeba goal bungi nnyo.
Kigongo mumativu nti Arsenal ekubo lyekute lilambulukufu era omutendesi Mikel Arteta amulinamu essuubi.
Kigongo agamba nti ne sizoni yabwe eno eya 29 tebatandise bubi era ne mukifo kyebalimu ekyokusatu Kigongo agamba nti bajja kukivaamu bamalire wagulu wakyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com