ENNAKU zino ebintu byongedde okwononekera ababaka abali mu buyinza, nga buli olukya ekibiina ekikulemberwa Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu ekya National Unity Platform NUP kibaako omuvubuka gwe kiyungula okusigukuulula ababaka abali mu bitundu eby’enjawulo.
Olw’aleero tukuletedde Musaayi muto Wilson Male abakulira NUP gwe baleese okusigukuulula Omubaka Johnson Muyanja Senyonga e Mukono South.
Bwe twamusisinkanye mu makaage agasangibwa ku kyalo Lubugumu mu Gombolola ye Nakisunga Male yatunyonyodde bwati;
Kitange ye mwami Godfrey Nsereko nga mu kiseera kino abeera ku mutala Katosi, Mmange ye Mukyala Aidah Nakiwala omutuuze mu Lubugumu e Namaiba Nakisunga,
Nazaalibwa mu mwaka gwa 1989 ku kyalo Lubugumu ekisangibwa mu muluka gwe Namaiba mu Nakisunga era gye nkulidde okutuuka wano
Okusoma kwange nakutandikira mu ssomero lya Nakisunga Pulayimale okutuuka mu kibiina ky’okuna, ne ngenda e Namutambi mu ky’okutaano ne ky’omukaaga, ate ne nzirayo e Nakisunga ne ntulirayo P7.
Ebibuuzo bwe byakomawo nga mpise bulungi neegatta ku ssomero lya Bright College e Nakisunga, ne neeyongerayo mu ssomero lya OSATO Vocational School Lugazi gye natuulira siniya ey’okuna, Oluvanyuma neegatta ku Fairland High School e Nakabago Mukono gye nakolera siniya yange ey’omukaaga.
Neeyunga ku Ttendekero lya National University of Rwanda ne nkuguka mu by’obusuubuzi saako n’okutandikawo emirimu BBA/ ENT, era nga mu kiseera kino ndi mu Ttendekero lya Kinyatta University Nairobi gye ndi mu kukola Diguli yange mu mateeka mu mwaka ogw’okusatu.
Male Yakula atya nga omwana mu Nakisunga?
Nakula nga abaana balala bonna mu kyalo wabula ekyenjawulo kye nalina bwali butetenkanya okwawukanako nabaana abalala ku kyalo Lubugumu, Jjajjange Mensi Mensi Nantume ye yankuza nga ono yali amanyiddwa nnyo mu kufumba kabalagala, era nze nakula abantu bonna bammanyi nga akaana akato akatunda kabalagala okwetoloola e Gombolola ye Nakisunga yonna, era mwe najjanga ensimbi ezansomesa saako ne baganda bange.
Nga jjajja Mensi afudde twakwatagana ne jjajja wange omulala Stephania Nantongo ne tutwala omulimu gwaffe ogw’okutunda kabalagala mu maaso okutuusa mu mwaka gwa 2000 bwe natandika okusuubula kasooli saako ne ssabuuni mu kitundu kya maserengeta ga Mukono yonna.
Mu mwaka gwa 2008 nawandiisa kkampuni yange eyasooka ekola ku by’obusuubuzi byange emanyiddwanga Wilson And Sons Investments Limited nga nokutuuka kati gye nkoleramu emirimu gyange egy’obusuubuzi.
Ndi musuubuzi wa byennyanja omukukuutivu mu Uganda, Kenya, Tanzania Congo namawanga amalala, era abantu be waffe naddala abavubi mbalwaniridde nnyo mu mbeera ze bayitamu nga bakola omulimu gw’okuvuba saako n’okusuubula ebyennyanja.
Abavubuka mbagazisizza omulimu gw’okuvuba saako n’okusuubula ebyennyanja, kubanga ffe abamu abaagutandika edda tulina bingi bye tufunyemu kubanga gulimu sente nnyingi.
Abavubuka mbajjemu enkola y’okulya sente ekivubi nga kati bangi kubo balina ebintu by’omugaso bye bakoze mu nsimbi ze bajja mu buvubi.
Lwaki ozze wesimbewo mu by’obufuzi ate nga oli musuubuzi?
Oluvanyuma lw’okulaba ebizibu ebiri mu mulimu gw’okusuubula ebyennyanja omuli emisolo emiyitirivu, ebbeyi ekyuka buli kadde saako namateeka ge by’obuvubi agatunyigiriza ate nga gakolebwa mu lukiiko lwa Ggwanga olukulu, nasalawo neenyigire mu by’obufuzi nsobole okulwanirira abantu bange nga mpita mu kukola amateeka agabagasa.
Ekintu kino sikitandise leero nvudde wala nga nkigobako kubanga ku myaka 23 gyokka gye nalina mu mwaka gwa 2011 najjayo empapula nvuganye ku kifo ky’obwaSsentebe bwe Gombolola ye Nakisunga naye mu kiseera ekyo nga amateeka ekiseera ekyo gaali teganzikiriza era ne nzirayo mu mulimu gyange egy’obusuubuzi.
Oluvanyuma natandika okusuubula emmotoka nga nzijja mu Ggwanga lya Rwanda nga nzirrea mu Uganda okutuusa mu mwaka gwa 2016 lwe navaayo ne nvuganya ku kifo ky’omubaka wa Palimenti mu kitundu mwe nzaalibwa ekye Mukono South nga nkozesa kaadi ya Go-Forward.
Bwe bitaagenda bulungi naddayo ku wansi mu bantu ne neeyunga ku muganda wange Hon. Kyagulanyi Sentamu ne tutambuza ekisinde kya People Power mu Mukono ne bweru wa Mukono, okutuusa bwe twafunye ekibiina kyaffe ekya NUP.
Njagala okulaba nga etteeka bwe lilamula omunaku bwe lilamula n’omugagga nga ssemateeka wa Uganda bwagamba mu nnyingo eye 79, sso ssi kututenatemamu nga abamu tunyigirizibwa amateeka.
Okukyusa etteeka lye by’obuvubi nsonga nkulu nnyo kubanga amateeka agasinga ge tugoberera ga dda nnyo ku mirembe gya Bazungu kyokka nga omulembe gukyuse nnyo.
Okugoberera endagaano ye Maputo eyalagira ebitundu 10 ku buli kikumi ku bajeti ye Ggwanga okudda mu by’obulimi kubanga abantu ba wansi abasinga ku by’obulimi kwe bayimiridde.
Ssagalira ddala ddagala kkolerere okuva mu mawanga ge bweru abalimi lye bateeka ku birime byaffe, kubanga eryo lye livuddeko okwononeka kwe ttaka ewaffe kye njagala okugobera ddala mu Mukono South.
Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi ewaffe abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere.
Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com