Bya Moses Kizito Buule.
ABATUUZE ku kyalo Ggaba Katente B mu ggombolola ye Nakisunga mu Disitulikiti ye Mukono basattira, olwAbaana be yali minisita we by’obulimi n’obulunzi omugenzi kati Israel Kibirige Ssebunya okw’ekobaana ne ssentebe wekyalo Kino George Mutumba okubagobaganya ku kibanja kyabwe.

Bano bagamba nti kituufu ab’enju yomugenzi Kibirige Sebunya be baali bannanyini ttaka kwe bali nga bbo ba kibanaja eky’abaweebwa Jjajja waabwe, nti naye batabani ba Sebunya bazze babatisatiisa nga bwe bagenda okubagoba yadde nga Jjajjabwe omugenzi chrizestom Sekindi yabaleka mukyo.

Okusinziira ku muwala w’omugenzi Sekindi  Nanteza  Josephina alumiriza Ssentebbe we kyalo kino George Mutumba  ne bannanyini ttaka okw’ekobaana n’ebakozesa olukujjukujju okubasalako ekibanjja ekyabwe awataali kuteesa kwonna nga kw’otadde nokubatisitiisa nga bakozesa poliisi ye Seeta Nazigo  nga bayita mubagulako ebisango sango wakati mu butagoberera mateeka.

Abamu ku Bazzukulu ba Ssekindi.

” Mukuwa kitaffe ekibanja kino waaliwo n’omutaka Esero Mubiru eyali omutongole wa Kabaka era ono yasaako emikono ku ndagaano nga Jjajjaffe agula ekibanja kino, kale Ssentebe Mutumba n’abaana ba Kibirige Sebunnya batandikirawa okugamba nti tetulinaawo kibanja kyonna” Nanteza bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti mu kiseera bali mu kutya oluvanyuma lw’omuntu wabwe Peter Luyidde 27 eyakwatibwa mu mwaka gwa 2016 mu mwezi gw’ekkumi nga okuva ku olwo taddangamu kulabikako.Omutaka Bakulumpagi kati aliwo yanyonyodde ku ndagano gye baakola era n’ategeeza nti mukadde we yali
asiima mukozzi we Sekindi kulabirira ebiggya byabwe ekisera ekinene era ekibanja ky’amuweebwa nga akasiimo.

George Mutumba Ssentebe We kyalo Ggaba Katente.

WATCHDOG mu kw’ogerako ne Ssentebbe we kyalo kino Mutumba George yegaanyi ebimutekebwako nagamba nti bano baali baagala kwezza ekibanja kya Buliggwanga kyona era nomuntu gw’ebagamba okubuzawo tebamumanyi ku kyalo  kino.

Comments