Bya Kiyimba Bruno

Kiyimba.bruno@gmail.com

 Abantu 27 bebakajayo empapula nga begwanyiza okukikiklira ekibiina kya NRM mu paliyamenti y’obuvanjuba bwa Africa, EALA.

Abamu kwabo abajayo empapula kuliko eyaliiko minister omubeezi owebyobulimi Mary Mugyenyi, eyaliko ow’ebyenfuna Henry Banyenzaki, Rose Akol, Sarah Kajingo, Nabulya Teopista Ssentongo, Aneke Obita Nancy, Ambrose Mulangira, Musinguzi Jonah ne Capt. Edward Francis Babu.

Ssentebe wakakiiko kebyokulonda mukibiina kya NRM, Dr. Tanga Odoi agambye bannamawulire nti olunaku lwenkya lwebagenda okumaliriza okuwandiika abagala ebifo bino, olwonno ogusigadde bagulekere olukiiko olukulu lu central executive committee, okusunsulamu abagwanidde.

 

Comments